POLIISI eweze ebikujjuko omuli okukumba n'okuyisa ebivvulu eri bassentebe ba LC1 abanaabeera bawangudde mu kulonda kw'enkya.
Mu kusooka, Kituuma abalabudde nga kkampeyini zonna, bwe zikomekkerezebwa leero, ng'enkya teri kkampeyini n’emu ekkirizibwa kugenda mu maaso na kusaba balonzi bululu nti okuggyako okwetegekera okulonda.
Agambye nti ebyokwerinda binywezeddwa mu bitundu by'eggwanga byonna, era n'asaba abo bonna abanaabeera bafunye okusoomoozebwa, okuyitira mu mitendera n'okutuukirira be kikwatako.
Rusoke, alabudde abo bonna abeetegese okwenyigira mu kukola efujjo, okutiisatiisa n'okutabula okulonda, okubyewala nti kuba, baakuvunaanibwa era bakangavvulwe.