Amawulire

Kitalo! Abadde agenda okusaba eryato limuyiye mu nnyanja n'abbira n'afa!

Omuntu omu afiiridde nnyanja Bunyonyi omulala n'asimattuka, akaato mwe babadde nga bagenda okusaba, bwe kabbidde leero kumakya.

Kitalo! Abadde agenda okusaba eryato limuyiye mu nnyanja n'abbira n'afa!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Omuntu omu afiiridde nnyanja Bunyonyi omulala n'asimattuka, akaato mwe babadde nga bagenda okusaba, bwe kabbidde leero kumakya.

Afudde ye John Tumukunde 45 nga musomesa era ng'abadde mutuuze ku kyalo Butebe mu muluka gw'e Nyamiryango mu disitulikiti y'e Rubanda.

Asimattuse ategeerekeseeko lya Rebecca 19 nga kigambibwa nti bombi, babadde bakedde kugenda kusaba nga bayitira ku Lake Bunyonyi, eryato mwe babadde ne libbira.

Omwogezi wa poliisi mu Kigezi, Nelson Tumushime, alabudde abo bonna abatambulira ku mazzi, okwambala life jackets, okwewala akabindo n'obutakozesa maato gakaddiye

Tags:
Kusaba
Kugenda
Amawulire