Abavubuka bafunye obutakkaanya ne balwanagana okukkakkana ng'omu afumise munne ekiso ekimusse.
Poliisi ekutte Enock Ainamani ku bigambibwa nti yamusse, nga bwe bayigga n'abalala.
Kitegeezeddwa nti mu kiro ekikeesezza leero ku ssaawa nga 4:00, omugenzi n'abalala, baafunye obutakkaanya ne bayomba okukkakkana nga balwanye, era okutta kwe kwazzeeko.
Kitegeezeddwa nti mu kulwanagana, omu asiseeyo ekiso n'akifumita Ainembabazi mu kifuba n'agwa wansi n'afa.
Omwogezi wa poliisi mu Kigezi, Nelson Tumushime agambye nti bakutte Ainamani nga bwe bayigga n'abalala.