Amawulire

Palamenti ekunyizza akulira KCCA ne Minisita wa Kampala

Palamenti ekunyizza akulira KCCA ne Minisita wa Kampala 

Abakungu ba KCCA nga bali mu kakiiko ka palamenti
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

BYA EVEREST MUKIIBI 

ABABAKA abatuula ku kakiiko Ka palamenti akalondoola ebyokuzimba aka parliamentary committee on physical infrastructure bakunyizza abakulu okuva mu kitongole ekiddukanya ekibuga Kampala ekya  KCCA ku nsonga ya mataba agatawaanya ekibuga naddala mu biseera ebyenkuba ennyingi.

Abakungu ba KCCA bakulembeddwamu Akulira ekitongole kino Hajat Sharifa Buzeki wamu ne minisita wa Kampala Hajat Minsa Kabanda nga bano akakiiko akukubirizibwa omubaka wa Mbarara City South Mwine Mpaka kabayise okwanukula ku nsonga ezitatambula bulungi mu Kibuga Kampala. 

Abakungu ba KCCA nga bali mu kakiiko

Abakungu ba KCCA nga bali mu kakiiko

Ababaka bakwatiddwako nnyo oluvannyuma lw'okukitegeerako nti gavumenti yakafiirwa obuwumbi obusoba mu 20 ng'eriyirira abasubuuzi abaafiirwa emaali yaabwe olwamataba agagambibwa okuva ku kizimbe ekyazimbibwa ku mwala gwa Nakivubo.

Aba KCCA bekwasizza akakiiko akenjawulo akatekebwawo eyali sipiika wa palamenti Anita Among okulondoola ensonga eno eyomwaala nti kekagotaanya ebintu

Tags: