Bya Zulaika Iqra Nakato
Kkampuni ya Uganda Electricity Distribution Company Limited (UEDCL) etegeezezza nti okusala kw’amasannyalaze okubadde kulabikawo mu bitundu eby’enjawulo eby’eggwanga ne Bitundu ebye njawulo kuva ku bwetaavu bw’amasannyalaze obweyongedde olw’okweyongera kw’omuwendo gw’abantu, okukula kw’amakolero, bizinensi, amasomero n’ebitongole ebirala ebikozesa amasannyalaze buli lunaku.
Isaac Katewanga Ag. Chief Commercial and Operations Officer wa UEDCL agaseeko nti ensonga endala enkulu evuddeko okusala kw’amasannyalaze kwonoona ebikozesebwa by’amasannyalaze okuva mu bantu (vandalism). Mu bitundu nga Mukono, Kamuli, Masaka ne Mbarara, waliwo abantu abonoona empagi n’emikutu gy’amasannyalaze ekiyimiriza okutambuza amasannyalaze agagenda mu bitundu ebirala. Kino kireetera abantu bangi okusigala nga tebalina masannyalaze

Isaac Katewanga Ag. Chief Commercial and Operations Officer
Kino kigendereddwamu okukendeeza ku kusala kw’amasannyalaze n’okuleeta obuweereza obw’omutindo eri abakozesa.UEDCL era etegeezezza nti emirimu gy’okuzza obuggya omukutu mu bitundu bya Kavule ne Nakulabye ne Kololo giwedde.
Era bategeezezza nti mu kiseera kino, okuva nga 30 Julayi okutuuka nga 8 Agusito ,okuva enkya okutuuka akawungeezi abantu ababeera mu bitundu bya Masanafu, Lugala, Lusanze, Kigobe, Bukulujji Nateete Police Station, Kibubiro, Busega, Nateete Church Zone n’ebitundu ebiriraanye basabiddwa okugumiikiriza olw’emirimu gy’okulongoosa omukutu gwa masannyalaze n’okukakasa nti gukola bulungi.
UEDCL esabye abantu okussa ekimu n’ekitongole kino mu kukuuma ebikozesebwa by’amasannyalaze, ng’egamba nti oluvannyuma lw’emirimu gino okuggyako ebizibu ebiva mu kwonoona ebikozesebwa, obuweereza bw’amasannyalaze bugenda kuba bwesigika.