ABANTU munaana abagambibwa okuba mu kibinja ekirudde nga kisala n'okubba waya z'amasannyalaze e Buikwe, okubba woyiro okuva mu tulansifooma n'ebyuma ebirala, bakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa poliisi n'amagye.

Waya ze babaddenga basala
Mu kikwekweto ekikoleddwa era bazudde ebizibiti ebiwerako omuli waya , ebyuma ebisala waya n'emiti ne kalonda omulala.

Abagambibwa okusala waya abaakwatiddwa.
Ensonda mu poliisi zitegeezezza nti bamaze okukwatagana ne ACP Kamoya akulira okunoonyereza mu kitongole kya Electricity Regulatory Authority (ERA) okumukwasa abasibe mu kaweefube w'okugenda mu maaso n'okunoonyereza ku bunyazi obuzze bubaawo.