MINISITULE y’ebyobulamu ewabudde abakyala abakozesa enkola z'ekizaalaggumba nebafuna obukosefu ku mibiri gyaabwe ku ngeri gyebasobola okwejjanjaba nebatereera mu kifo ky'okubivaako kuba ziyamba mu ngeri y'okweteekateeka awamu n’okwekulakulannya
Bino byogeddwa abasawo abakugu okuva mu kitongole kye by'obulamu okubadde Dr Chris Ebong nga ye Principal Medical Officer ne Dr Daniel Aguma akola mu bye ddagala nga basomesa banamawulire ab’emikutu egyenjawulo abegattira mu kibiina kya Health Journalist network Uganda e Kamwokya.
Dr Chris Ebong ne Dr Daniel Aguma nga basomesa Banamawulire abegattira mu kibiina kya Health Journalist network Uganda
Dr Daniel Aguma ng'ono akola mu ddagala mu kitongole kye by'obulamu ategezezza nti ekitongole kye by'obulamu kiri mu kawefube okulaba nga watekebwo eddagala lya abasajja erya kizaala kuba mu kiseera kino enkola yokka eriwo yakubasala nseke ate nga bangi bagitya.