Amawulire

Kasasiro akutte omuliro ne gulanda ne gwokya amayumba e Luweero

Abantu abaliraanye awakung’aanyizibwa kasasiro ku kyalo Kalongo mu kibuga Luweero basimattuse okufa bw’akutte omuliro ne gukwata amayumba agawera mukaaga ne gasaanawo.

Kasasiro akutte omuliro ne gulanda ne gwokya amayumba e Luweero
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu abaliraanye awakung’aanyizibwa kasasiro ku kyalo Kalongo mu kibuga Luweero basimattuse okufa bw’akutte omuliro ne gukwata amayumba agawera mukaaga ne gasaanawo.

Omwogezi wa poliisi mu Savanna, ASP Sam Twineamazima ategeezezza nti poliisi ezikiriza omuliro etuuse ne guzikiriza nga tegunnalandukira ku mayumba malala nti kyokka tewali muntu alumiziddwa.

Amayumba abiri omuli eya Ismail Ssuuna gaasaanyeewo ate amalala ana obusolya bwagwo bwayidde ne bugwa munda.

Kigambibwa nti omuliro gwavudde ku baabadde bookya kasasiro eyayase n'amaanyi olw'okukala olwa ppereketya w'omusana ne guddukira ku misinde.

Poliisi esabye abantu omuli abasuubuzi okwewala okumala gookya bisaaniiko n'okwewala okumala gabimansa kuba bwe bikwata omuliro gubeera gwa bulabe.

Tags:
Luweero
muliro
Kasasiro
Kulanda