POLIISI e Bweyogerere, eri mu kuyigga omusajja agambibwa okufumita munne ekiso ekimusse, bwe babadde balwanira ssente za zzaala Shs. 2,000/.
Kigambibwa nti bano bombi, baasoose kuzannya zzaala nti Nuwamanya n’aggyawo ssente 2,000/ ekyanyizizza Katabani ne batandika okuyomba.
Kitegeezeddwa nti nnyini bbaala , asasudde ssente ezo era n'abalagira okufuluma ekifo , nti ne bagenda mu maaso n'okuyomba nti era wano, Nuwamanya w'akubidde Katabani ekikonde, Katabani n'amufumita ekiso, Nuwamanya n'afiira mu ddwaliro e Mulago.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti bayigga Katabani avunaanibwe kyokka nga waliwo abalala basatu abakwatiddwa, bayambeko mu kunoonyereza.