MNISTULE y'ebyenjigiriza erabudde amasomero n'abantu ab'enjawulo abasomesa abaana mu luwummula, nti kino kikyamu era anaakwatibwa w'akukkangavvulwa.
Bino bibadde mu lutuula lwa Palamenti minista omubeezi ow'eby'enjigiriza n'emizannyo Peter Ogwanga bw'abadde ayanukula omubaka Zambali Bulasio Mukasa (Nansana Municipality), bweyategeezeza palamenti nti waliwo amasomero n'abantu abasomesa abaana mu luwummula.
Ogwang agamba nti ebiwandiiko (Circular) ebiweereddwa abakulira disitulikiti (CAO) ne Calendar z'amasomero zirambika bulungi ebiseera by'okusomesa n'okuwummula.
Ogwang yagambye nti Minisitule era etaddewo essimu etali yakusasulira (080037771) eri abantu bonna okuwaaba amassomero agakyasomesa abaana mu kiseera ky'okuwummula.
Bweyabadde ayogera ku nsonga eziruma eggwanga Zambali Bulasio Mukasa (Nansana Municipality) yalaze obwennyamivu ku nsonga y'okusomesa abaana mu kiseera ky'okuwummula mu masomero ga Gavumenti nag'obwannannyini.
Yagambye nti abaana balina okuweebwe obudde bw'okuwumula n'okubeera ne bakadde baabwe mu kiseera ky'okuwumula, nti naye amasomero gamu gali mu kusaanyawo ekigendererwa ekyo.
Zambali yasabye Minisitule y'ebyenjigiriza n'emizannyo okulondoola ensonga eno n'okuteekawo amateeka, n'okubonereza amasomero agajeemera oluwwumula lw'abayizi.