Amawulire

Abadde azze okuyingira amagye azirikidde mu 'training' nga baakadduka kkiromita 4 zokka

Enkumi n’enkumi z’abavubuka bannayuganda abaagaliza eggwanga ebirungi mu disitulikiti y’e Mukono n’ebitundu ebiriraanyeewo  bazze mu bungi okukeberwa nga baagala okwegatta ku ggye lya UPDF ekkuumaddembe bakuume eggwanga lyabwe.

Abadde azze okuyingira amagye azirikidde mu 'training' nga baakadduka kkiromita 4 zokka
By: Musasi Bukedde, Journalist @New Vision

Enkumi n’enkumi z’abavubuka bannayuganda abaagaliza eggwanga ebirungi mu disitulikiti y’e Mukono n’ebitundu ebiriraanyeewo  bazze mu bungi okukeberwa nga baagala okwegatta ku ggye lya UPDF ekkuumaddembe bakuume eggwanga lyabwe.

 

Enteekateeka eno esombodde abavubuka okuva e Mukono, Kayunga, Buvuma ne  Buikwe, era ebaddemu okwekebejja n’okwekenneenya abo bonna ababadde bazze okweyunga ku magye ng’abaserikale abavunaanyizibwa beetegereza oba nga ebiwandiiko bye balina n’embeera y’obulamu bwabwe mwe bali, bibasaaniza okweyunga ku ggye lino.

 

Wabaddewo katemba atali musasulire, omu ku bavubuka abazze okuyingira amagye bwe ‘yayabise’ n’akoowa nga baakaddukako kkiromita nnya zokka okubagezesa oba nga bali ‘fiiti.’

 

Abdallah  Nahate, omutuuze w’e Butaleja yazirise oluvannyuma lw’emisinde gino era n’asaba abaabadde ku kakiiko akayingiza abantu okumuddiza empapula ze addeyo awaka n’ategeeza banne nti eby’okuyingira amagye byagaanye.

 

Ono baamututte mu ddwaaliro lya gavumenti e Mukono okwongera okumwekebejja ng’embeera gy’alimu si nnungi.

 

 Okusinziira ku bisaanizo ebigoberererwa okuyingira amagye, teri nnusu yonna muntu gy’ateekeddwa kuwaayo okwegatta ku magye okuggyako okugenda mu bifo gye bayingiriza abapya, n’awaayo ebimukwatako n’empapula n’oluvannyuma abaserikale abavunaanyizibwa ku kuyingiza abantu mu magye ne bamwekebejja oba asaanidde oba nedda.

 

Abo abatasobodde kuyitawo ku mutendera gwonna babaddiza ebiwandiiko byabwe, ate abalala basobola okujulira ne badda bwe baba batuukirizza ebyabasabibwa nga bayita ku disitulikiti gye bava. Ab’e Buikwe be bagenda okukomekkereza enteekateeka eno

Tags:
Amawulire
UPDF
Mukono
Magye
Training