ABANTU babiri baafiiridde mu kabenje ddereeva wa Sino Truck bwe yeekanze Fuso eyabadde egiva mu maaso ku luguudo oluva e Kampala okudda e Ggulu, n'egwa ne yeefuula, ababiri abaagibaddeko ku musenyu emabega, ne bafiirawo.
Kigambibwa nti olw'amataala agabadde gaaka ennyo, ddereeva wa Sino Truck yagiwugudde n'egwa n'ettirawo babiri abaagibaddeko emabega.
Omwogezi wa poliisi mu Savana, Sam Twiineamazima, agambye nti okubuuliriza ku kyavuddeko akabenje, kugenda mu maaso.