Amawulire

Poliisi eyigga maama eyaggyeemu olubuto olw'emyezi 8 n'asuula bbebi ku lutindo

Kirowoozebwa nti omwana ono yabadde mu myezi nga munaana era nga kigambibwa nti akasukiddwa ku lutindo lw'omugga Nabuyonga era ng'okunoonyereza kugenda mu maaso

Poliisi eyigga maama eyaggyeemu olubuto olw'emyezi 8 n'asuula bbebi ku lutindo
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

POLIISI  eyigga omukazi agambibwa okuggyamu olubuto lw'omwana omuwala, n'amusuula ku lutindo e Nabuyonga mu kibuga e Mbale.

 

Kirowoozebwa nti omwana ono yabadde mu myezi nga munaana era nga kigambibwa nti akasukiddwa ku lutindo lw'omugga Nabuyonga era ng'okunoonyereza kugenda mu maaso.

 

Omwogezi wa poliisi e Mbale, Rogers Taitika agambye nti basobodde okukung’aanya ebitundu by'omubiri ne babyongerayo mu ddwaliro e Mbale era bali ku muyiggo okuzuula ali amabega w'ekikolwa kino.

Tags:
Amawulire
Poliisi
Lutindo
Mateeka