Abantu 5 abagambibwa okwenyigira mu kubba pikipiki n'okuzikyusakyusa wamu n'okuzitema sipeeya, bakwatiddwa poliisi okuva e Busabala ne mu Ndeeba.

Omu ku baakwatiddwa
Abaakwatiddwa, kuliko Ivan Mugisha 28 ne David Kabanda 25 nga bano baggyiddwa Busaabala kati n'abalala basatu abaggyiddwa mu Ndeeba.
Kino kiddiridde bano okukwatibwa ku bigambibwa nti babbye pikipiki nnamba UMA 330NR era omusango ne baguloopa e Nabweru.

Omuntu omulala ateeberezebwa eyakwatiddwa.
Kitegeezeddwa nti abaserikale baagirondodde ne bagizuula e Busaabala ne bakwata abantu babiri nabo abaalonkomye bannaabwe mu Ndeeba be bakolagana nabo okuziggyamu obuuma obuzirondoola n'okuzikyusakyusa.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Recheal Kawala, agambye nti abakwate babanoonyerezaako ku misango egyaloopebwa e Nateete, Jinja Rd, Nabweru n'awalala era omuyiggo gw'abalala, gugenda mu maaso.