Amawulire

KCCA esabye abantu obutakung'aanyiza kasasiro ku makubo

EKITONGOLE kya KCCA kisabye abantu obutakung’aanyizza  kasasiro ku makubo wabula balinde mmotoka ezimutwala bamutikkeko.

KCCA esabye abantu obutakung'aanyiza kasasiro ku makubo
By: Eria Luyimbazi, Journalist @New Vision

EKITONGOLE kya KCCA kisabye abantu obutakung’aanyizza  kasasiro ku makubo wabula balinde mmotoka ezimutwala bamutikkeko.

Abantu nga bayonjo ebitundu byabwe

Abantu nga bayonjo ebitundu byabwe

Bwe yabadde akulembeddemu enteekateeka y’okuyonja ebitundu mu Kampala akulira KCCA Hajjati Sharifa Buzeki  yagambye nti abantu tebalia kukunganizza kasasro ku nguudo wabula blinde motoka ezimutwala bamutikekko atwalibwe nga kio kyagerereddwamu okutangira entuumu za kasasiro.

Hajjati Buzeki ng'alongoosa n'abatuuze mu Nkere zzooni e Kibuye eguglo.

Hajjati Buzeki ng'alongoosa n'abatuuze mu Nkere zzooni e Kibuye eguglo.

Buzeki yagambye nti era abantu tebalina kumala gamansa kasasiro buli we basanze wabula bafune obudeeya bamuteekemu nga bamwawudde, okuli avunda n’atavunda.

Yayongeddeko nti bwe yabadde mu Nkere zzooni aliko ekitundu kye yasanzemu entuumu ya kasasasiro n’abagamba bamukungaanye bamutwale ku mmotoka kuba baabadde bamusudde okumpi n’omwala .

Tags:
KCCA
Kusaba
Bantu
Makubo
Kukung'aanya