POLIISI y'e Nakaseke eyigga abatuuze abaalumbye amaka g'omusamize ku kyalo Ssebuguzi mu muluka gw'e Kisimula mu ggombolola y'e Kapeeka ne bamutta ne bookya essabo lye n'okukoona ennyumba ye.

Twineamazima ng'annyonnyola
Kigambibwa kino kyavudde ku buteetaba mu kuziika muganda we Jasper Kawuki ku kyalo Bukakala mu ggombolola y'e Kapeeka abaana b'omugenzi nga beegattibwako abaffamire n'abatuuze ne bamulumba.
Twineamazima yategeezezza nti poliisi we yatuukidde awaabadde ettemu yasanzeewo pikipiki UBD 702B n'emmotoka ekika kya Toyota Wish eyabadde eyokeddwa egambibwa nti ya Deborah Nakagwa eyabadde agenze ewa Ssemuddu okumusawula.
Kyategeezeddwa nti Ssemuddu abadde amaze ebbanga ng'abeera Kampala oluvannyuma lw'okutunda ebibanja kye n'asigazaawo poloti bwe byalemye kwe kukomawo mu kyalo n'azimbamu essabo mw’abadde asawulira.
Kigambibwa nti abaffamire baludde nga bagugulana naye nga bagamba baakafiirwa abantu baabwe basatu kyokka nga mu kuziika talinnyayo ne beekwasa nti omugenzi yandibeera n'akakwate ku nfa yaabwe olw'okwesiba mu kusawula.
Twineamazima yategeezezza nti bakutte omuntu abayambeko mu kunoonyereza nga bwe bayigga abalala abeetabye mu ttemu lino.