ABATUUZE b’omuluka gwa Kisenyi II mu Kampala Central basabye KCCA ubazimbira kaabuyonjo z’olukale kiyambeko okutumbula obuyonjo n’okufuna abantu we beeyambira.
“Ekimu ku bijja okuyaba omuluka gwa Kisenyi II okutumbula obuyonjo kwe kufuna kaabuyonjo z’olukale kuba eziriwo tezimala bantu baliwo era tusaba KCCA etukwatireko,” Kenyi bw’agamba.
Yagambye nti kaabuyonjo baakuzissaako amateeka kisobozese okuzikuuma obulungi ng’abaana abatasussa myaka 12 tebasasula ssaako abakyala ab’embuto.
Yagambye nti abantu balina okukuuma obuyonjo kiyambeko okulwanyisa endwadde omuli omusujja, ekiddukano n’endala.Akulira ebyobulamu mu KCCA, Dr. Sarah Zalwango yakubirizza abantu okweggyako kasasiro kyokka baleme kumala gamumansa balinde kkampuni KCCA ze yawa ttenda okumuyoola.
Yagasseeko nti abalina kaabuyonjo ezijjudde baleme kuziteera mumyala kuba be basaasaanya obukyafu era KCCA yassaawo empaka mu munisipaali za Kampala okulondako esinze obuyonjo ng’omuwanguzi waakulangirirwa mu December.