OMULAMUZI Mike Elubu owa kkooti enkulu ewozesa abalyake n’abakenuzi akkirizza okweyimirirwa kw’abakungu ba palamenti, abalagidde okusasula obukadde 30 mu buliwo.
Obore bamulagidde asasule obukadde 30, n’ekyapa kya maka ge e Kiwanga Mukono, Murebe bamulagidde asasule obukadde 20 n’ekyapa kya maka ge agasangibwa e Goma.
Ye Kaaya waakusasula obukadde 20 n’endagaano kwe yagulira amaka ge ag’e Kyebando, Okui bamulagidde asasule obukadde 20 n’ekyapa kye, Adilo bamutaddeko obukadde 35, Okema obukadde 35 ate Otebata obukadde 30.
Bonna balagiddwa okuwaayo ebyapa okutudde amaka gaabwe. Ababeeyiridde bateeredwako akakalu ka bukadde 200 ezitali za buliwo.
Omulamuzi era abalagidde okweyanjulanga ew’omuwandiisi wa kkooti eno buli Monday esooka mu mwezi nga bwe bamenya obukwakkulizo baakuddamu okukwatibwa n’ebyapa byabwe bitwalibwe gavumenti.
Abawawaabirwa ye Chris Obore yali akulira eby’amawulire ku palamenti, Daniel Adilo akulira abakozi, Leonard Okema omuwandiisi ,Rajab Kaaya Ssemalulu akulira eby’okunonyereza, Emmanuel Okwi owabakungu Vincent Otebata ne ,Murebe Methods.
Oludda oluwaabi lugamba nti wakati wa April 2023 ne May 2026 Ku palamenti Obore yabba obuwumbi 5 no’bukadde 253 ze yali alinako obuyinza mu ofiisi ye.
Adilo wakati wa April 2023 ne May 2026 Ku palamenti yabba obuwumbi 14 n’obukadde 605, Okema yabba obuwumbi 3 n’obukadde 489. Kaaya yabba obuwumbi 2 n’obukadde 170.
Bonna awamu bavunaaniddwa okubuzaabuza ssente obuwumbi 10 n’obukadde 893 ssaako okufiiriza gavumenti ssente eziri mu buwumbi 27 n’obukadde 200 n’abalala.