Amawulire

OMWAMI wa Ssabasajja akulira essaza ly’e Mawokota Kayima Haji Hassan Kasujja akubirizza abantu okwekebeza endwadde nga tezinnasajjuka

OMWAMI wa Ssabasajja akulira essaza ly’e Mawokota Kayima Haji Hassan Kasujja akubirizza abantu okwekebeza endwadde nga tezinnasajjuka

Abantu nga bafuna obujjanjabi bw'obwereere mu lusisira lweby'obulamu ku ddwaaliro lya IPI Health Center IV e Bunjakko
By: Vivien Nakitende, Journalist @New Vision

OMWAMI wa Ssabasajja akulira essaza ly’e Mawokota Kayima Haji Hassan Kasujja, akubirizza abantu bulijjo  okugenda mu basawo abakugu beekebeze endwadde bamanye ebibaluma nga bukyali basobole okujjanjabwa bawone, baleme kulinda biseera byakulemererwa .

Kayima Haji Hassan Kasujja

Kayima Haji Hassan Kasujja

Ono agamba nti, omuntu bwamanya amangu ekirwadde ekimuluma nekitandika okujjanjabwa amangu, ayambibwa okuwona okusinga okugenda mu ddwaaliro ng’omaze kulwala ekiyinza okubeera ekizibu,  kubanga obulwadde bungi abantu babumanya kikeerezi nga bumaze okusensera omubiri, nga tebukyayinza kuwonyezebwa.

Abadde aggulawo olusisira lweby’obulamu olwategekeddwa ab’eddwaaliro  lya IPI Health Center IV ku mwalo  e Bunjakko, mu ssaza lya Beene ery’e Mawokota, okubangula abatuuze ku ndwadde ez’enjawulo nebyebalina okukola okuzetangira, ssaako okubawa obujjanjabi ku bwereere.

Yeebazizza  Dr Grace Sseruyange eyatandikawo eddwaaliro lino ku kitundu, nategeeza nti, tebabadde na ddwaaliro lyonna ku bizinga by’e Bunjako, ng’abantu batambula kilomita ezisukka 30 okugenda e Nkozi okufuna obujjanjabi, nti  naye kati essaala zaabwe ziddiddwaamu kubanga bafunye eddwaaliro okumpi.

Akuliddemu  eby’obujjanjabi mu lusiisira luno Dr. Richard Ssemanda agambye nti, btaddewo olusisira lweby’obulamu luno okuyambako ku by’obujjanjabi kubanga abantu ku bizinga by’e Bunjakko n’okubategeeza ebirina okukolebwa okwkeuuma nga balamu bulungi, naddala kati nga babasembereza eddwaaliro okumpi.

Dr Grace Sseruyange omutandisi w'eddwaaliro lya IPI Health Center IV  e Bunjakko

Dr Grace Sseruyange omutandisi w'eddwaaliro lya IPI Health Center IV e Bunjakko

Bajjanjabye endwadde omubadde; Puleesa,  sukaali, endwadde z’amagumba, okukebera omusaayi, okukebera ab’embuto, okutayirira, okukuula amannyo n’endala, ssaako okuwa obujjanjabi ku bwereere.

Agambye nti, obungi bw’abantu abazze  kabonero akalaga nga bwebalina obwetaavu bw’obujjanjabi, neyeebaza Dr Sseruyange nanyini ddwaaliro okuyamba obuzibu bw’abatuuze b’e Bunjakko n’ebitundu ebiriraanyewo.

Awabudde  abantu okukomya omuze gw’okwejjanjaba kubanga kya bulabe, bajje mu bakugu bakeberebwe bamanye ekituufu ekibaluma balyoke bajjanjabwe, kubanga obulamu bwa muwendo ate tulina bumu,  bwebuba bugenze tebukomawo, nabasaba n’okukomya okulowooleza mu ddogo bajje mu malwaliro baleme kujja nga baweddeyo.

                Omutandisi w’eddwaaliro lino era nga ye mumyuka asooka  owa Ssebwana e Busiro, Dr. Grace Steven Sseruyange agambye nti, basazeewo okujjanjaba abantu okubayambako mu by’obujjanjabi  era balina n’amaato agatambuza abalwadde okuva ku bizinga ebirala okubaleeta e Bunjakko okufuna obunjjanjabi.

Abantu nga bafuna obujjanjabi bw'obwereere  mu lusisira lweby'obulamu ku ddwaaliro lya IPI Health Center IV e Bunjakko

Abantu nga bafuna obujjanjabi bw'obwereere mu lusisira lweby'obulamu ku ddwaaliro lya IPI Health Center IV e Bunjakko

Asabye abantu ababeera ku bizinga nti, obulamu bw’okwesanyusaamu bulungi kubanga abasika tebeebaza, nti naye bajjukire okufaayo ku bulamu bwe okubeera obulamu kubanga kyekisinga obulungi.

Abatuuze bajjumbidde olusiisira mu bungi nebasanyukira n’okwebaza Dr. Sseruyange olw’okubajjanjaba n’okubasembereza eddwaaliro okumpi, kyebagambye nti, abawonyezza olugendo oluwanvu lwebabadde batambula okugenda e Nkozi okufuna obujjanjabi.

Tags: