Amawulire

Pulezidenti asiimye Kyabazinga ku bumu n’enkulaakulana

PULEZIDENTI Yoweri Museveni asiimye Obwakyabazinga bwa Busoga okutumbula obumu mu Busoga awamu n’okutondawo pulogulaamu eziyambye okukulaakulana ekitundu kya Busoga n’okusitula embeera z’abantu.

Kyabazinga (wakati) nga yeegatiddwaako Nabbanja (owookusatu ku ddyo), Kattikiro Mayiga (owookubiri ku ddyo), Omumyuka wa Katuukiro asooka Polof. Dr. Muhammad Lubega (ku ddyo), minisita Babalanda (ku k
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

PULEZIDENTI Yoweri Museveni asiimye Obwakyabazinga bwa Busoga okutumbula obumu mu Busoga awamu n’okutondawo pulogulaamu eziyambye okukulaakulana ekitundu kya Busoga n’okusitula embeera z’abantu.
Pulezidenti Museveni era yayozaayozezza Kyabazinga William Gabula Nadiope IV olw'okutuuka ku matikkira ge ag’omulundi 12

Bya LUKE KAGIRI
ABAKULEMBEZE ba Munisipaali y’e Mityana bazzeemu okukola oluguudo lw’e Buswabulongo, oluvannyuma lw’ennaku eziwerako nga mulimu guyimiridde olw’abatuuze okwemulugunya nti ebintu byabwe byonoonebwa.
Yinginiya wa Munisipaali eno, Stuart Ssekajugo yagambye nti bakkaanyizza n’akakiiko akalondoola omulimu guno n’abatuuze ku nkola entuufu, n’abakakasa nti tewali agenda kukosebwa.
“Buli kintu kigenda kukolebwa bulungi era mu bukugu era mu mateeka nga tukkaanyizza nti tewali agenda kukosebwa ng’abamu bwe baali beeraliikiridde,” Ssekajugo bwe yagambye.
Oluguudo luno luva Buswabulongo ne luyita e Kibaati n’okutuuka e Businziggo nga byonna biri mu Divizoni y’e Busimbi nga luliko obuwanvu bwa kiromita 4.
Ssekajugo yagambye nti luno lukolebwa ku nsimbi eziva mu Gavumenti ate olulala olukolebwa lwe luva e Wabigalo okutuuka e Busuubizi mu Divizoni y’e Ttamu.
“Twasazeewo tuzisseeko essira zikolebwe bulungi kuba ziriko ebidduka bingi nnyo era ne bizinensi za bantu nnyingi,” bwe yagasseeko. Mu kiseera kino, Munisipaali era ekola Cardinal Wamala Road, oluva mu Kiyinda ku Musaalaba ne lutuuka e Wabigalo, mu Ttamu Division.
Bya SAUL WOKULIRA
ABANTU abasoba mu 8,000 be baaganyuddwa okujjanjabwa n’okulongoosebwa ku bwereere.
Gavumenti, ekibiina ky’abasawo abalongoosa (Association of Surgeons) n’Obwakabaka bwa Buganda be baataddewo ensiisira z’ebyobulamu okuzisembereza abantu abalina endwadde z’okulongoosebwa bakolebweko ku bwereere.
Obujjanjabi obwa wiiki emu bwagabiddwa mu disitulikiti ezitwalibwa eddwaaliro lya Kayunga Regional Referral era nga zino kuliko; Kayunga, Buikwe, Buvuma, Mukono, Luweero, Nakasongola ne Nakaseke.
Dayirekita wa Kayunga Regional Referral Hospital, Dr. Robert Ssentongo yagambye nti mu nteekateeka eddwaaliro likola ku bantu bangi kuba lifuniramu abava e Busoga ne Lango.
Dr. Ssentongo yagambye nti olusiisira olw’ekika kino lubeerawo oluvannyuma lw’emyaka 20 ng’olwasembayo lwaliwo mu 2005.
Omulangira Khalifaani Kakungulu ye yatongozza olusiisira luno ne yeebaza abategesi ne Dr. Ssentongo olw’omulimu gwe bakola okujjanjaba abantu ate n’okukuuma obuyonjo mu ddwaaliro ly’e Kayunga ekiganyudde abalwadde.
nga bino byabadde mu bubaka bwe obwasomeddwa Katikkiro wa Uganda, Robinah Nabbanja bwe yabadde ku matikkira ku kibangirizi ky’ekitebe ekya disitulikiti y’e Mayuge ku Lwomukaaga.
Omukolo ogw’Amatikkira ga Kyabazinga gujaguzibwa buli mwaka nga September 13 wabula ku mulundi guno gwajjululwa ne guzzibwa nga September 19 okusobozesa Obwakyabazinga okukungubagira Omukama Oyo.
Nabbanja yatuusizza ettu lya bukadde 30 okuva ewa Pulezidenti Museveni nga yalikwasizza Katuukiro wa Busoga, Dr. Joseph Muvawala. Mu bubaka bwe, Kyabazinga Gabula Nadiope yasiimye Abasoga olw'okwagala ennyo ennono yaabwe n’abategeeza nga Inhebantu wa Busoga, Jovia Mutesi bw’abalamusizza.
Ng’asinziira ku mulamwa gw’amatikkira ogugamba nti ‘Okunyweza obuwangwa n’ennono zaffe nga tuyita mu by’enkulaakulana’, Kyabazinga yakubirizza abantu naddala abavubuka okwenyigira mu miramwa egibafuula ab’obuvunaanyizibwa basobole okuwanirira n’okutuusa Busoga mu mbeera eyeeyagaza.
Yakubirizza abazadde okukuumira abaana baabwe mu masomero basobole okubeera ab’obuvunaanyizibwa, abakulembeze abalungi mu biseera by’omu maaso era babeere ba mugaso mu bitundu gye babeera.
Mu ngeri ey’enjawulo Kyabazinga yasiimye Pulezidenti Museveni awamu n’omuduumizi w’eggye lya UPDF, Gen. Mukoozi Kainerugaba olw’obuwagizi bwe bawadde Busoga. Emikolo gyetabiddwaako Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga eyasiimye Obwakyabazinga okuyita Buganda okwetaba ku mukolo guno.
Mayiga yategeezezza nti Obwakabaka bwa Buganda n'Obwakyabazinga bulina ebifaanana bingi era buli kya ssanyu mu Busoga, kibakwatako nnyo mu Buganda n’asiima Kyabazinga okugumira ku mulamwa gw’okutumbula ebyobuwanga n’ebyennono ya Busoga nga bo Abaganda bwe bakola mu Buganda.

Tags: