OMUPAKASI avudde mu mbeera, n'atemaatema mukamaawe n'amutta, lwa kugaana kumusasula shs 20,000/ , z'abadde akoledde
Kigambibwa nti omugenzi , yapangisizza Baseme n'omulala Senteza bamunogereko emmwaanyi ku shs 20,000/.
Ekyadiridde Ssengaga kujjayo muggo n'akuba omupakasi , era omupakasi naye kwe kusikayo ejjambiya, n'amutema ensingo n'omukono n'abulawo.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala , Lameck Kigozi, agambye nti bamuyoddeyodde ne bamutwala mu kalwaliro k'e Nakasozi ne bamwongerayo e Kiboga n'afiira mu kkubo.
Agasseeko nti embwa ekulembeddemu abasirikale ne bakwata omupakasi ono era akuumirwa ku poliisi e Kiboga nga n'ejjambiya ekozeseddwa mu butemu, nayo ezuuliddwa ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.