Amawulire

Bakungubagidde Moses Matovu

ABANTU ab’enjawulo bakungubagidde omuyimbi Moses Matovu, eyattiddwa mu bukambwe eggulo ku Lwokuna e Kibuli.

Katikkiro Mayiga
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABANTU ab’enjawulo bakungubagidde omuyimbi Moses Matovu, eyattiddwa mu bukambwe eggulo ku Lwokuna e Kibuli.
Akulira ekitongole ekirung’amya eby’empuliziganya mu ggwanga ekya Uganda Communications Communication Nyombi Thembo yagambye nti eggwanga lifiiriddwa omuntu ow’omugaso ennyo, agasse ettafaali ennyo mu kutunda Uganda mu nsi yonna.

Yagambye nti Matovu abadde muyimbi ddala nga tayiiyiriza buyiiyiriza, era byalese akoze mu kisaawe ky’okuyimba, eggwanga lyetaaga okubikuuma, abaliddawo babisange, bibayambe okuyigirako. Kino yeeyamye okukitwala eri banne mu gavumenti bakikubaganyeeko ebirowoozo.
Yayongeddeko nti Matovu abadde kabaka mu kufuuwa omulere n’okuyimba (maestro), era si bya kusaaga, omusajja tagenda kuzzikawo, wadde abayimbi n’abafuuyi b’omulere bangi abaliwo era abagenda okujja. Yawadde eky’okulabirako ky’omugenzi, Jimmy Katumba, nti wadde abayimbi bangi abaliwo, naye teri yali azze na ddoboozi nga lya Katumba.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akungubagidde Omuyimbi era munnabitone Moses Matovu Bukenya eyavudde mu bulamu bwensi olunaku lw’eggulo e Kibuli.
Mayiga yagambye nti Uganda ne Africa baafiriddwa munnabitone ow’enjawulo abadde agundidde mu mulimu gw’okuyimba ng’atuuse ku ddaala ly’obukugu obutali bwa bulijjo.
Yavumiridde ettemu eryatusiddwa ku Matovu era n’asaba poliisi okukola kyonna ekiri mu busobozi bwaayo okunoonyereza n’okukwata bonna abaalyenyigiddemu.
Omuyimbi Mesach Semakula yagambye nti eggwanga lifiiriddwa omuntu ow’amaanyi ennyo atazzikawo, abayimbi bonna gwe babadde batwala nga kitaabwe. Yayongeddeko nti Matovu abadde afaayo nnyo okukola ekisinga nga takola bya kanaggweeramu eyo.
Yagambye nti, Matovu y’omu ku basajja abaasima omusingi gwa myuziki wa Uganda era nti bandi ya Afrigo etemeddwaako oludda. Matovu era aleze abayimbi bangi okuyita mu kubawabula, okumala emyaka mingi nnyo gy’amaze ng’ayimba.
Joanita Kawalya yagambye nti Matovu abadde ayagala okukola emirimu ne givaamu bulungi (Perfectionist) era nga takolagana na bantu bateeka kyejo mu kukola.
Bwakwata ku luyimba, Kawalya yagambye nti abeera afaayo ku buli kintu ekirulimu nga takoma ku bigambo, wabula ng’agoberera ebivuga n’amaloboozi ebibeera mu luyimba. Era abadde tayagala kuleeta luyimba ku siteegi nga teruwedde mu buli kimu.
Omutegesi w’ebivvulu Moses Balunywa owa Balunywa Promotions yagambye nti ku Lwokusatu ekiro yabadde ne Matovu nga bakubaganya ebirowoozo ku kivvulu kya ‘Ataakulaba’ ekibeerawo buli mwaka. Era baabadde bakaanyizza okuddamu okusisinkana eggulo (Ku Lwokuna), bagende ewa Nyombi Thembo bamuyitiremu, ekitasobose.
Yagambye nti Matovu abadde musajja muyimbi mulungi, ng’ate akolaganika naye, era babadde mu nteekateeka za kumuzimbira nnyumba.
Omuyimbi Edmund Ganja omu ku bayimbi ba Afrigo bwe baatandika ne Matovu mu myaka gy’e 60 mu Cranes band, amwogedeko ng’omusajja abadde omukozi ennyo era akumakuma abantu, era ng’alina entegeeragana ey’amannyi n’abantu ab’ebiti eby’enjawulo.
Omuyimbi Travis Kazibwe amanyiddwa nga Dr. Tee, yagambye nti Matovu abadde amutwala ng’ekyokulabirako mu kukola enyimba era atalina buzibu na muntu yenna. Ye ng’omuntu amuyigiddeko bingi, era mu by’akola ebisinga agattirira ebyo Moses Matovu byazze akola.
Martin Nkoyooyo (Yoyo) ssentebe wa UPRS yagambye nti abadde amwebuuzako nnyo kubanga naye yaliko ku bukulu buno. Ayongerako nti Matovu abadde musajja munyumya nnyo, era enfa ye emujjukizza omuyimbi Lucky Dube eyakubwa abayaaye ne bamutta mu 2007 e South Africa.
Minisita wa gavumenti ez’ebitundu Balaam Barugahara yavumiridde ettemu eryakoleddwa ku Matovu, n’asaba ebitongole by’okwerinda okukola ekisoboka okulaba nga abatemu bano bakwatibwa bavunaanibwe.
Yayongeddeko nti ekisaawe ky’okuyimba kifiiriddwa naggwano, atazzikawo, era eggwanga terijja kwerabira mukululo gwe mu kutumbula ennyimba n’obuwangwa bwa Bannayuganda

Tags: