Amawulire

Enkwata y’amakungula eteekufiirize

UGANDA egambibwa okufiirwa wakati w’ebitundu 20-45 ku 100 eby’ebirime mu kiseera ky’amakungula nga kino kiva ku ngeri abalimi n’abalina bizinensi ezitambulira ku bulimi gye bakwatamu bye bakungudde.

Wano nga bakuba obuwunga bwa kasooli.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

UGANDA egambibwa okufiirwa wakati w’ebitundu 20-45 ku 100 eby’ebirime mu kiseera ky’amakungula nga kino kiva ku ngeri abalimi n’abalina bizinensi ezitambulira ku bulimi gye bakwatamu bye bakungudde.
Greening village Farming Center ku kyalo Lugolwemodde mu ggombolola y’e Kyesiiga, disitulikiti y’e Masaka, agamba nti, omulimi anaafuna ssente alina okukola enteekateeka entuufu okulaba ng’amakungula agakwata bulungi okulaba ng’akuuma omutindo afune ebbeeyi ennungi ku katale ng’akola bino:

l Okwanika : Mu birime ng’amakungula galina okwanikibwa nga tonnatwala ku katale nga emmwaanyi, obutiko, muwogo oba lumonde okukola obuwunga, okukaza ebibala n’ebirala weetaaga okussaawo enkola z’okwanika entuufu ng’akatandaalo, okusiba enkokoto w’ozaanikira oba okukozesa soola ddulaaya.
l Ensiba : Engeri gy’osiba by’okungudde okubitwala mu katale kikulu kuba abaguzi batunuulira nnyo endabika n’engeri gy’osibyemu by’otunda.Entereka : Olina okumanya engeri gy’otereka ebirime byo by’okungudde. Okugeza ebibisi ng’ebibala oba enva endiirwa. Ate ebikalu ng’emmwaanyi, emberenge, ebijanjaalo, ebinyeebwa n’ebirala olina okubitereka mu kifo nga kikalu, kiyisa empewo n’ebirala.
OKWONGERA OMUWENDO MU MAKUNGULA
Joseph Nkandu, akulira NUCAFE, agamba nti, omulimi anaafuna mu bulimi naddala obw’emmwaanyi weetaaga okuteekateeka emmwaanyi ng’ozirunda okusinziira ku bunene bw’emiramwa, okukola kaawa, okukuba obuwunga mu kasooli n’ebirala. Nga kkiro ya kasooli egula 500/- kkiro y’obuwunga egula 2,500/-.
Wabula Nkandu agamba nti, kino ogenda kukisobola nga weeteeseteese bulungi okuviira ddala ku kulina, endabirira y’ennimiro, enkwata y’amakungula olwo ogatteko omutindo ate nga nawo olina okumanya akatale

Tags: