🇺🇬 Tukwagaliza Olunaku olw'Ameefuga ag'e 64 olulungi 🇺🇬
  *   🇺🇬✨ Okujaguza eddembe lyaffe, obusika bwaffe, obumu, okwesiimisa n'omwoyo gwa Uganda. Tiimu ya Bukedde ekwagaliza Olunaku olw'ameefuga olw'omulundi ogwa 64!🎉🇺🇬   *  
Amawulire

Ebirina okukolebwa okuyamba omukozi okunyumirwa omulemu gwe

BULI lukya omukozi omulungi ayongera okuyiggibwa n’okufuuka ow’omuwendo, kubanga  abantu abakola obulungi n’okwagala bakendedde nnyo.

MICHAEL M.SSEBOWA mssebowa@newvision.co.ug
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

BULI lukya omukozi omulungi ayongera okuyiggibwa n’okufuuka ow’omuwendo, kubanga  abantu abakola obulungi n’okwagala bakendedde nnyo.
Kino kitegeeza nti, bw’oba olina omukozi omulungi kyandibadde kirungi okufuba nga bw’osobola okulaba ng’omusigaza ate era omuyambe okulaba ng’akola n’okusingawo.

Bannabyanfuna bazze batusomesa nti, kasitoma ye Kabaka wa bizinensi, ekitali kikyamu, kubanga y’aleeta akasente, kyokka era kikulu okukijjukira nti, bizinensi bw’ekula nga tokyayinza kugiddukanya wekka, nga tonnaba na kulowooza ku kasitoma, omukozi ono mukulu nnyo, kubaga asobola okukulaakulanya oba okukusuula.
Nga bwe tugambye nti, abakozi abalungi tebafunika, tuteekwa okuzuula amakubo mwe tulina okuyita okukuuma abo Katonda b’aba atuwadde ne baba balungi ate n’okusitula omutindo gw’abalala.
Abakugu ba Forbes batuwa obukodyo n’enkola ekusobozesa okusigaza omukozi omulungi nga bwe tugenda okulambulula wammanga :
l Lambulula ebimusuubirwamu eby’ekigero
: Omukozi bw’akola ng’amanyidde ddala mukama we ky’amusuubiramu akola nga taliimu kubuusabuusa nti, akola ekituufu.
l Mubuulire by’alina okukola ebiraga nti, emirimu agikoze bulungi l Tosussa mirimu
gy’omuwa ekiyinza okuvaamu okwetamwa. Abakozi abakoowu batta emirimu.
l Ssaawo enkola emuyamba okufuna obudde obukola ebibye ebweru w’omulimu, mu bimpimpi naye asobole okunyumirwa obulamu. Okukola si buddu. Mulage nti, wa mugaso mu bizinensi :
l Siima obuwanguzi bw’aba atuuseeko era mubusanyukire okusinga buli kiseera okunoonya ensobi.
l Omukozi mulage nti, emirimu gye emirungi gy’akola buli lunaku gikola kinene ku kukulaakulana kwa bizinensi
l Manya omukozi okusiima kw’asinga okusanyukira; waliyo ayagala ssente zokka, waliyo ayagala okumuwaana mu bantu n’ekifaananyi kye ne kitimbibwa ng’omukozi
w’omwezi oba omwaka, oba ayagala okuweebwa obuvunaanyizibwa.
Teekawo empuliziganya entuufu :
l Mukkirize okuleeta ebirowoozo n’okuwa amagezi, okubuuza ebibuuzo, ate n’okukutegeeza by’alowooza nti, tebitambula bulungi.
l Ebimuluma bikoleko :
Ggyawo emiziziko egimulemesa okukola obulungi; biyinza okuba ebikozesebwa, eyinza okuba enkola egobererwa ng’erina bw’etta emirimu n’ebirala ebiremesa abakozi okukola
emirimu gyabwe.
l Funa akadde akatuula naye mwekka babiri akubuulire okusoomoozebwa kw’ayitamu era awasoboka omuwe obuwagizi obumusobozesa okuvvuunuka okusoomoozebwa okwo.
Mulage ekkubo n’essuubi ly’okukulaakulana :
l Ggwe nnyini bizinensi olina ebiruubirirwa byo, kyokka n’omukozi ono aba alina ebibye. N’olwekyo bw’oba omukozesa nga ggwe oyagala okutuukiriza ebibyo, teweerabira nti, naye ayagala okukulaakulana.
Leka kumulimba nti, ebibyo bye bibye. Olina okumulaga nti, kkampuni bw’ekula naye akula era nga kijjira mu bikolwa. Ebyo eby’okugamba nti, ka tusooke tumalirizeekizimbe ndyoke nkwongeze omusaala, tebijja kukola kubanga naye akimanyi nti, ekizimbe si kikye era enkyaajja kuvaawo akirekewo.
l Mwongere obukugu mu by’akola; ggwe kennyini muyigeirize by’abadde tamanyi, bw’aba yeetaaga kutendekebwa mukkirize atendekebwe, era mukkirize agezese by’ayize.
l Muwe eby’okukola ebimuyamba okutuuka ku buwanguzi obunene.
Abakozi abalungi baagala okusoomoozebwa kubanga oluvannyuma lw’okuggusa eky’amaanyi kibaleetera essanyu ery’enjawulo.
N’olwekyo musoomooze kyokka nga tokola kimenya, kubanga bw’otokikola omulimu.
Toganya mbeera n’enkola
enkyamu okutta molaala:
l Tokkiriza bakozi bakyamu aboogera obubi abalala okwegiriisa kubanga babamalako ekyagala okukola.
l Zuula mangu ebiyinza okulemesa omukozi okukola obulungi era bikoleko: Muno muyinza okubaamu ebikozesebwa ebikyamu, bammaneja ababi, abakozi ababi oba ab’omutima omubi.
l Beera mukulembeze omulungi gy’ali : Ng’omussamu ekitiibwa, bw’aba mu ssanyu ng’osanyuka naye, bw’aba mu nnaku ng’onakuwala naye, kwe kugamba nti, muwagire
mu buli mbeera.
Ebyo bye bimu ku by’oyinza okukola okuyamba omukoziwo omulungi. Jjukira mu nsi muno teri  agenda kukola yekka akole eby’amaanyi, kino ne kitegeeza nti, olina okufuna
abakozi abakuyambako, kyokka Mukama bw’aba akuyambye n’ofuna amaanyi,
emirimu era n’akola bulungi, lwana okulaba nga tomufiirwa. Abakozi abalungi
bagaggawaza.
ENGERO Z’ABAGAGGA:
Ssajjabbi, liwoomera mu ngabo.

Tags: