Lubega Kassim gwe tumanyi nga Yung Mulo ekivvulu kye yategese katono kimwettire nga enjogera y’ennaku zino bw’eri.

Navio ng'ayimbirako Yung Mulo.
Bwe yalinnye ku siteegi yagambye nti abantu ne bwe banaabeera basatu bokka agenda kubayimbira era n’abeebaza m ubutono bwabwe okumuyiirawo omubiri.
Ziza Bafana omu ku bayimbi abaamuwerekedeko teyeerumye ntama era n’ayambalira abantu naddala ab’enkyukakyuuka obutavaayo kuwagira muntu waabwe.

Yung Mulo nga yaakalinnya ku siteegi.
‘Wano we tubade tulina okulagira enkyukakyuka olw’ensonga nti Young Mulo muyimbi wa maanyi’’ bye bigambo bye yatandise nabyo nga yaakalinnya ku siteegi.
Era yagenze mu maaso ne yeewuunya abantu ensonga ku lwaki tebajjumbira bivvulu bya bayimbi ekibamalamu amaanyi nga bo.
Mu kumariliza yasaasidde Yung Mulo olw’ekyo ekyamutuuseeko era n’amwetondera olw’obutakola kimala mu kukunga abantu bajje mu kivvulu kye ng’ate yakitegese mu kifo ekirungi.
Abalala abaayimbideko Yung Mulo kwabaddeko King Saha, Kabako, Navio, Jowy Landa n’abalala abayimbi abato.