GAVUMENTI ng’eyita mu minisitule y’ebyenjigiriza etegeezezza nga bw’egenda okwongera okwaniriza obuyiiya n'obuvujjirizi okuva mu bantu abeesowolayo okusiga ensimbi mu byenjigiriza.
Ono abade mu kibuga Jinja mu kutongoza okuzimba ebibiina, ofiisi , etterekero ly’ebitabo wamu ne zi labalatole mu matendekero g’ebyenjigiriza ag’enjawulo agakyalina okusoomooza kw’ebizimbe abayizi mwe basomera.
Ebizimbe bino ebitongozeddwa byakuzimbibwa ekitongole ky’obwannakyewa okuva mu Bubiriji ki Enabel.
Okusinziira ku ba Enabel nga bakulembeddwa yinginiya Frank Waibale baategeezezza nti , essira lyakuteekebwa ku kyakulaba ng’ebyenjigiriza bitumbulwa mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.
Ono ategeezezza nti pulojekiti eno egenda okukolebwa mu Jinja yakuwemmenta obukadde bwa Euro 15 .
Minisita Muyingo ategeezezza nga gavumenti bw’eyanirizza obuyiiya obwongerwa mu kisaawe ky’ebyenjigiriza naddala mu bavujjirizi abakwasizaako minisitule y’ebyenjigiriza.
Ategeezezza nti gavumenti nneetegefu okwongera okuwagira ebyenjigiriza, wabula akuutide abaddukanya amatendekero gano obutakotoggera bayizi naddala abawejjere.