ABANTU babiri abagambibwa okutta abantu mu bikolwa eby'okubasaddaaka, bakwatiddwa poliisi mu Nyendo Masaka.
Kigambibwa nti nga Sept 29,2026 omutwe gw'omuntu nga guzingiddwa mu kaveera akeeru, gwasuulibwa mu Kako cell ku luguudo oluva e Kako okudda e Mukungwe ate ekitundu ky'omubiri ekirala ne kisangibwa e Butale Cell e Kyannamukaaka.
Omugenzi oluvannyuma yategeerekeka nga ye Jackline Natukunda . Kamugisha yakulembeddemu abaseirikale n'abannyonnyola engeri gye yawambamu omuwala ono n'engeri gye yamutta.
Alumiriza omusawo w'ekinnansi ono naye eyakwatiddwa, okumupangisa obukadde 2 amufunire omutwe gw'omuntu era nga yamuwaako emitwalo 25
Omwogezi wa poliisi e Masaka, Twaha Kasirye, ategeezezza nti omusibe era akirizza nga bw'azze yeenyigira mu ttemu mu bitundu by'e Nsangi mu Wakiso, ne Ssanga mu Kiruhura abagenzi ng'abaggyamu emitima.