ABA Rotary Club of Kampala Springs bajjumbidde enteekateeka ya Pass PLE eya Bukedde bwe bawadde amasomero ag’enjawulo empapula za Pass PLE n’ebikozesebwa abayizi mu bigezo byabwe eby’akamalirizo.
Ku Upper Prisons Primary School baaniriziddwa atwala Upper Prisons, ACP Bryan Col. Mbaziira wamu n’akulira essomero lino Gilbert Niwamanya ate ku St. Stephen’s C.O.U Primary School ne baanirizibwa omukulu w’essomero Rebecca Kagoya.
Kamukama yategeezezza nga bwe baakizuula ng’abaana b’eggwanga basaana okukwatirako mu byenjigiriza ate nga nabo nga Lotale baluubirira nnyo ebyenjigiriza kwe kukwatagana ne Bukedde okulaba nga babaako engeri gye batumbula ebyenjigiriza.
Abayizi abagenda okukola ebigezo babadduukikridde n’ebikozesebwa mu kukola ebigezo omuli ebyeyambisibwa mu kubala, okuwandiika n’ebirala nga kuno kwe bagasse ebibuuzo ebitera okubabuuzibwa mu lupapula lwa Bukedde nga birimu n’ebiddibwamu ekibayamba abayizi okumanya ekituufu.
Yategeezezza nga bwe bamaze emyaka etaano nga batambula ne Bukedde mu nteekateeka ya Pass PLE nga ku mulundi guno Bukedde yabawadde empapula 200 buli Lwakubiri n’Olwokuna ku bwereere nga nabo bagenda kweyambisa omukisa guno bazituuse ku masomero.
Kamukama asiimye Bukedde olw’enteekateeka eno n’asaba bagende nayo mu maaso kubanga ejja kuyambako okwongera okubangula abaana b’eggwanga n’okutumbula ebyenjigiriza.
Akulira amasomero ga Prisons, Gilbert Niwamanya yeebazizza Bannalotale olw’okubalowoozaako nga balina essuubi nti abayizi baabwe bajja kukola bulungi.
Akulira essomero lya Luzira C.O.U Primary School, Rebecca Kagoya yasiimye Bukedde olw’okufaayo okutumbula ebyenjigiriza kuba bangi bayise mu Pass PLE okwejjukanya ebibeera mu bigezo.
Yasiimye abaLotale okubalowoozaako n’asuubiza nga bwe bagenda okufuba okulaba ng’abayizi bonna 153 abagenda okutuula ebigezo ku mulundi guno bakolera ddala bulungi.