Ensawo z'amanda 270 ze zikwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa mu bitundu mwe baagaana okwokya amanda.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, agambye nti baliko abantu abawerako abakwatiddwa omuli baddereeva, abakola ku loole, abagasuubula n'abo abagatundira ku mabbali g'enguudo.
Agasseeko nti wadde olina ensawo emu mu mmotoka, era oli waakukwatibwa bakuvunaane olw’okuzimuula ekiragiro kya pulezidenti.