Poliisi esabye abaddukanya amasomero okwongera okulondoola abayizi mu masomero naddala mu bisulo mwe basula.
Omuliro ogwakwata essomero lya Nakasero SS nga Sept 28,2026 okusinziira ku ntambi za kkamera, bakizudde nga gwakoleezebwa omuyizi wa S. 3 nti kuba yali tayagala kisulo.
Omuliro omulala ku ssomero lya Baraka Educational centre e Wattuba Ggombe nga October 9, nti nayo omuyizi ow'emyaka 11 ye yagukoleeza n'ekibiriiti nti kuba naye yali tayagala kisulo.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, agambye nti abaana baabakwata ne babavunaana.
Agasseeko nti mu bifo ebirala gye guzze gukwata, oluusi okunoonyereza kulaga nga waliwo obulagajjavu era n'asaba be kikwatako okufuna ebyuma ebizikiriza omuliro