Amawulire

Abadde yeeyita omuyambi wa RDC e Makindye n'anyaga ssente ku bantu poliisi emukutte!

OMUBALIRIZI w'ebitabo agambibwa nti aludde nga yeeyita omuyambi wa RDC  e Iganga n'anyaga ku bantu ssente, akwatiddwa poliisi.

Abadde yeeyita omuyambi wa RDC e Makindye n'anyaga ssente ku bantu poliisi emukutte!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

OMUBALIRIZI w'ebitabo agambibwa nti aludde nga yeeyita omuyambi wa RDC  e Iganga n'anyaga ku bantu ssente, akwatiddwa poliisi.

Emannuel Mugabi 38, Assistant Accountant e Bugweri Town Council nga mutuuze w'e Bugabwe mu muluka gw'e Nakigo e Iganga, y'akwatiddwa ku bigambibwa nti aludde nga yeeyita Tonny Nabala omuyambi wa RDC mu kibuga Iganga n'anyaga ssente.

Kitegeezeddwa nti abadde akubira abakozi amasimu naddala abo, be bali mu kunoonyerezaako ku mivuyo gy'okubulankanya ssente y'omuwi w'omusolo, nti ng'abasaba ssente wakati w’emitwalo 10 n’emitwalo 30 okubawonya ekkomera.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, agambye nti baludde nga bamulinnya akagere okutuusa lw'akwatiddwa, era ng'aliko abawerako b'azze afera ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Tags:
Ssente
Poliisi
RDC
Bantu
Makindye
Muyambi
Kunyaga