Bya Joseph Innocent Ssenfuma
EBIPYA bizuuse ku nkubakyeyo gwebaamenyedde ennyumba ku poloti esangibwa e Naakukuba Ssanga ekisangibwa mu Ggombolola y’e Gombe.

Nkubakyeyo ne famire ye nga bali ku nnyumba gyebaamenye
Alumiriza nti Ssempebwa bweyakomawo era tebaamusasula kyokka ne bamusaba abakkirize bagire nga bazimba omusingi nga bwebeetereeza bamusasule kyokka yeekanga ennyumba etuuse okukomerera ekyabatabula.
Atulaze ebiwandiiko by’obuguzi ne byagamba nti bazze babijingirira okumutwalako polotiye.
Ssentebe Bukenya ategeezezza nti ensonga za poloti eno zaatuuka mu woofiisiye era yafubanyo okuzituulamu kyoka nga Ssempebwa ne nnyina Nnalongo Shamim Ssempebwa beebulankanya nga kyazeemu okuwulira nti ennyumbaye emenyeddwa wabula tamanyi baakikoze.

Nkubakyeyo ne famire ye nga bali ku nnyumba gyebaamenye
Aba ffamire ya Mzee Galiwango beegaanye okuguza Ssempebwa ne nnyina ettaka nga n’obukadde 50 obwogerwako tebabukwatangako nebeegaana n’ekyokukoona ennyumba. Bategezezza nga bwebagenda okubaggulako omusango gw'okujjingirira emikono gyabwe kubanga ekibanja kya Male gwebaakiguza.
Male agambye nti ye ayagala nsimbize ezasigalayo ku plot eno nga bano balabika bakola lukujukuuju butamusasula.
Baali bakyali awo ate Ssempebwa ne nnyina Nnalongo Shamim Ssempebwa nebaleeta endagaano eraga nga bwebagula era ensonga nebazituulamu kyokka oluvannyuma lw’ekiseera nebaleeta endagaano endala eraga nti baagula ku famile ya muzee Isaac Ggaliwango ne mwanyina Nalongo Aidah Nansubuga.
Ssalongo Mayombye Henry asabye aboobuyinza okuyingira mu nsonga zabwe kubanga bali mu kubatisatiisa.
Ssenfuma Joseph Innocent