Amawulire

Poliisi ekutte omuvubuka ow'emyaka 25 ku by'okutta bbebi w'omwaka ogumu!

Kigambibwa nti omwana abadde mu nnimiro ne nnyina gy'abalumbye n'amutemako omutwe n'amutta.

Poliisi ekutte omuvubuka ow'emyaka 25 ku by'okutta bbebi w'omwaka ogumu!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Poliisi e Namutumba ekutte omusajja ow'emyaka 25 ku bigambibwa nti asse omwana ow'omwaka  ogumu.

Kigambibwa nti omwana abadde mu nnimiro ne nnyina gy'abalumbye n'amutemako omutwe n'amutta.

Bibadde ku kyalo Buyoboya mu ggombolola y'e Bulange mu disitulikiti y'e Namutumba.

Poliisi etaasizza omuvubuka ono ku bantu ababadde bataamye obugo nga baagala okumutta.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha agambye nti okunoonyereza kugenda mu maaso.

Tags:
Mwaka
PoliISI
Kukwata
Gumu
Bbebi