Amawulire

‘Mubuulirire abaana ku byobufumbo’

AMYUKA omwami wa Kabaka mu ssaza ly’e Kyaggwe, asabye wabeewo okusomesa abaana abawala abali mu S.5 ne S6  eby'obufumbo.

‘Mubuulirire abaana ku byobufumbo’
By: Steven Musoke, Journalist @New Vision

AMYUKA omwami wa Kabaka mu ssaza ly’ea Kyaggwe, asabye wabeewo okusomesa abaana abawala abali mu S.5 ne S6  eby'obufumbo.

 

Moses Ssenyonjo era nga yakulira akakiiko k’ebyenjigiriza e Mmengo agamba nti abaana abawala olumala S6, atandika kuyingirira ebya bafumbo wabula abasinga nga tafunye kadde kamala kuteekebwateekebwa ekivaako bangi okutomera.

 

Bino yabyogeredde ku ssomero lya St Joseph’s SS Naggalama awaabadde omukolo gw’okuggulawo enkiiko eziteekateeka omukolo Fr. JB Ssonko, kw’anajaguliza emyaka 25 gy’amaze mu busosodooti eginaabeerawo mu January omwaka ogujja.

 

Fr. Ssonko nga mu kiseera kino mukozi mu Gaba Seminary yasomera mu ssomero lya St. Joseph’s Naggalama, yeebazizza mikwano gye okuvaayo okumuwagira mu nteekateeka eno era n’asaba Omukama abaddizeewo.

 

Ssentebe w’akakiiko akateesiteesi, Agnes Nsubuga yayanjudde bajeti ya bukadde obusoba mu 50 era nga ku bwo baasonzeewo ssente ezisoba mu bukadde asatu.

 

Ssenyonjo era nga ye nnyini masomero ga St. Marys Lugazi agamba nti ye yatandise dda okubuulirira abaana ba haaya ku byobufumbo kibayambeko okufuna akaseera akamala okweteekateeka.

Tags:
Amawulire
Kyaggwe
Kabaka
Bufumbo