Amawulire

Lukwago addusiddwa e Mulago nga muyi......

EMBEERA ya munnamateeka eyaliko loodimmeeya wa Kampala, ssaalongo Erias Lukwago ezzeemu okutabuuka n’atwalibwa mu ddwaaliro e Mulago ng’ataawa.

Lukwago addusiddwa e Mulago nga muyi......
By: Ponsiano Nsimbi, Journalist @New Vision

EMBEERA ya munnamateeka eyaliko loodimmeeya wa Kampala, ssaalongo Erias Lukwago ezzeemu okutabuuka n’atwalibwa mu ddwaaliro e Mulago ng’ataawa.

 

Aggyiddwa mu ddwaliro ly’abakugu e Lubowa gy’amaze ebbanga ng’akuumibwa n’okujjaanjabirwa awatali kukkiriza bantu bangi kugendayo kumulaba.

 

Babadde bakkiriza baffamire bokka okuli omukyala, munnamateeka n’omuyambi we ow’enjawulo.

 

Leero mukyala we, Zawedde Lukwago akkiriziddwa okumulaba kyokka embeera mw’amusanze emutiisizza nattukiza okusaba abalina obuyinza bakirize bba atwalibwe mu ddwaliro ly’abakugu e India ng’abasawo mu ddwaliro e Mulago bwe baasemba mu lipooti eyatwalibwa mu kkooti gye buvuddeko.

 

Looya we Medard Lubega Sseggona ategeezezza Bukedde nti embeera ya Lukwago yatabuse mu kiro ekyakeesezza leero n’addusibwa e Mulago nga bukya ng’ataawa.

 

Agambye ng’oggyeeko obujjanjabi bwa basawo b’e Mulago mu woodi ya 6B, yeetaaga essaala ez’enjawulo kubanga embeera gy’alimu tesanyusa.

 

Omwogezi wa makomera, Frank Baine ategeezezza nti Lukwago yatwaliddwa e Mulago leero kumakya abasawo okuddamu okumwekebejja. Ono asambazze ebyogerwa nti mulwadde muyi.

 

Lukwago yaggulwako omusango gw’okusirikira amawulire agakwata ku kulya munsi olukwe n’agattibwa ku banne abaasooka okukwatibwa okuli Dr. Kizza Besigye, Hajji Obeid Lutale ne Capt. Denis Oya Ola abavunaanibwa ogw’okulya mu nsi yaabwe olukwe.

Tags:
Amawulire
Mulago
Kuddusibwa
Loodi mmeeya
Erias Lukwago