Amawulire

Omujjwa ayagala okusenda ebiggya ku ttaka ly'e Bukojja asattizza abaffamire!

FFAMIRE eri mu kusattira olw’omujjwa gw’egamba nti abasuza ku tebuukye ng’essaawa yonna asulirira kusenda biggya n’ekigendererwa eky’okubagoba ku ttaka kitaawe lye yabalekera.

Omujjwa ayagala okusenda ebiggya ku ttaka ly'e Bukojja asattizza abaffamire!
By: Peter Ssaava, Journalist @New Vision

FFAMIRE eri mu kusattira olw’omujjwa gw’egamba nti abasuza ku tebuukye ng’essaawa yonna asulirira kusenda biggya n’ekigendererwa eky’okubagoba ku ttaka kitaawe lye yabalekera.

Oluggya lw'ettaka Gafuma ly'ayagala okutwala.

Oluggya lw'ettaka Gafuma ly'ayagala okutwala.

Abali mu kusattira be batabani b’omugenzi George William Kato abalumiriza omujjwa George William Gafuma okwezza ettaka ly’omugenzi erya yiika 12 erisangibwa ku kyalo Namugoga mu Kajjansi town kkanso mu disitulikiti y’e Wakiso.

 

Benedicto Wasswa, omu ku bakojja ba Gafuma agamba nti yaweebwa obuvunaanyizibwa okukuuma ettaka lino mu 1992 oluvannyuma lwa Kato okufa era tewabadde buzibu bwonna okutuusa mu 2015 ensonga we zaasajjuka.

 

“Gafuma yajja ne baganda be ne babanja omugabo gwa nnyaabwe (Lovinsa Nalubega) ogwa yiika 2 okusinziira ku kiraamo kya kitaawe (Kato) kyokka kyatwewunyisa ate okujja ne poliisi nga tulinga abazzizza omusango.” Wasswa bw’ayongerako.

Looya Wa Gafuma, Sirag Kawuzi Ng'annyonnyola.

Looya Wa Gafuma, Sirag Kawuzi Ng'annyonnyola.

Yagambye nti Gafuma baamuwa omugabo gwa nnyaabwe n’ekyapa kyokka nti n’alemerako nti ayagala n’ekyapa kya jjajjaawe, kyokka olw’okuba nti baakibasabira ku mudumu gwa mmundu, baabongera yiika 5 ku yiika 10 ezaali zisigaddewo.

 

Yayongeddeko nti baali bamanyi bafunye ku buweerero, ne beewuunya ate okulaba Gafuma ng’akomyewo n’abasajja abalala nga bagamba nti beekyusizza baagala ekyapa kyonna ekyettaka ly’omugenzi.

 

Wasswa agamba nti baawabira Gafuma omusango mu kkooti e Ntebe ogw’okubba ‘letters of administration’ ezaamuyamba okukyusa ekyapa okukiggya mu mannya g’omugenzi Kato, kyokka beewunya okuba olunaku lw’okusala omusango ate ne batuukayo nga bagugobye ate nga n’olunaku lwa kkooti terunnatuuka.

Bakojja ba Gafuma abalumiriza okwagala okwezza ettaka ly'e Bukojja

Bakojja ba Gafuma abalumiriza okwagala okwezza ettaka ly'e Bukojja

Ye David Kato naye nga kojja wa Gafuma yagambye nti balina okutya nti Gafuma essaawa yonna asulirira kusenda biggya, nga yalabudde ne bakojja be nti baamuke ekifo kuba ye ayagala kukolerawo birala.

 

Kato yagambye nti bamanyi nti waasigalawo yiika 5, kyokka olw’okuba omujjwa Gafuma ekyapa yakitwala mu lukujjukujju, tebamanyi kituufu kati kiriwo ekibaleetedde okusoberwa.

 

Yasabye minisita w’ebyettaka mu ggwanga, Judith Nabakooba ssaako akakiiko ka State house Anti-corruption Unit okuvaayo kabayambe kuba batuuse mu ofiisi ez’enjawulo nga tebayambibwa nti nga ne poliisi gye beesiga ate bwe bagendayo ebakwata bukwasi.

 

Looya wa Gafuma annyonnyodde;

Siraje Kawuzi munnamateeka wa Gafuma okuva mu Maklaid advocates yategeezezza nti ensonga zibadde mu kkooti okuva mu 2018 era nti omulamuzi wa kkooti ento e Ntebe omusango yagusala nga Gafuma amezze bakojja be.

Looya Wa Gafuma, Siraje Kawuzi Ng'annyonnyola.

Looya Wa Gafuma, Siraje Kawuzi Ng'annyonnyola.

Nti bano baateekayo okwemulugunya mu kkooti enkulu e Ntebe nga bawakanya ebyasalibwawo mu kusooka era Kawuzi yagambye nti beetegefu okugenda mu buli kkooti kuba balina buli kimu ekyetaagisa.

 

Yasambazze ebigambibwa nti Gafuma yajingirira ekyapa, n’agamba nti baayita mu mateeka okufuna letters of administration era kwe baafunira ekyapa.

Tags:
Amawulire
Ffamire
Biggya
Tttaka
Mujjwa
Kusenda
Bukojja