Amawulire

Poliisi eyodde abavubuka 25 ku by'okutigomya abantu e Iganga

Ekikwekweto, kibadde Kigulu, CMS - Bukoyo, ne zzooni z’e Nakirurwe ne Estate era bonna ne babaggalira ku poliisi e Iganga.

Poliisi eyodde abavubuka 25 ku by'okutigomya abantu e Iganga
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABAVUBUKA 25 abagambibwa nti baludde nga batigomya abasuubuzi n'abatuuze e Iganga, bayooleddwa mu kikwekweto ekikoleddwa.

 

Ekikwekweto, kibadde Kigulu, CMS - Bukoyo, ne zzooni z’e Nakirurwe ne Estate era bonna ne babaggalira ku poliisi e Iganga.

Essimu ze baabakutte nazo

Essimu ze baabakutte nazo

Babakutte n'essimu 24 okuli ez'amapeesa 8 ne smart phones 16 , enjaga ne kalonda omulala.

 

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East Micheal Kasadha, ategeezezza nti okunoonyereza kugenda mu maaso.

 

Tags:
Amawulire
Iganga
Poliisi