Amawulire

Buzeki alagidde abakola oluguudo lwa Ben Kiwanuka okulumala mu nnaku 45

AKULIRA KCCA, Hajati Sharifa Buzeki alambudde oluguudo lwa Ben Kiwanuka n’awa kkampuni erukola ebiragiro erumalirize mu nnaku 45 nga byonna ebiri mu ndagaano gye babawa babitadde mu nkola.

Buzeki ng’aliko by’abuuza bayinginiya b’oluguudo lwa Ben Kiwanuka.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

AKULIRA KCCA, Hajati Sharifa Buzeki alambudde oluguudo lwa Ben Kiwanuka n’awa kkampuni erukola ebiragiro erumalirize mu nnaku 45 nga byonna ebiri mu ndagaano gye babawa babitadde mu nkola.
Bwe yabadde alambula oluguudo luno olukolebwa kkampuni ya Stirling, Buzeki yavudde ku Biwologoma nga bw’abuuza bayinginiya ebibuuzo naddala ku mukutu egitwala mukoka oba bakoze egyakkaanyizibwako.

Yababuuzizza lwaki oluguudo lwe bakola ate lulimu kasasiro ate ng’endagaano erambika bulungi nti balina okukuuma obuyonjo. Obwedda yeetegereza engeri ebigoma ebitwala mukoka gye byakoleddwaamu okulaba nga bisobola okutwala amazzi kuba tebakyayagala gayite kungulu kuba kyonoona enguudo.
Buzeki bwe yatuuse ku kizimbe kya Paaka Enkadde Mall, yasoyezza bayinginiya ebibuuzo ku bibalemesezza okubikka ekinnya kye baasima mu luguudo wakati ne bamutegeeza nti basoomoozebwa emidumu gya kazambi ng’enkola gye baagikolamu ya dda nnyo nga n’ebyuma ebirina okukyusibwa bibatwalidde akaseera okubifuna nga bali wamu n’ekitongole kya National Water.
Omwogezi wa KCCA, Daniel Nuweabine yagambye nti ku Ben Kiwanuka okutereeza emidumu gya kazambi kya nkizo era baagala kazambi yenna ava mu bizimbe ng’ayungiddwa ku layini emu nga n’ebigoma ebitwala mukoka bataddemu ebinene okwewala amazzi okuyungira mu bizimbe.
Yagambye nti aba kkampuni ya Stirling bakkirizza nti mu nnaku 45 oluguudo lujja kuba lukoleddwa ekitundu ekinene ng’abantu balukozesa era baataddewo emiwaatwa ab’amazzi n’amasimu mwe banaayisa payipu z’amazzi ne waya z’ebyempuliziganya kuba tebakyayagala kuddamu kusima nguudo ekiziivirako okwonooneka ne zitwala ssente okuddaabiriza.

Tags: