Amawulire

Pulezidenti alagidde ku nteeseganya z’okuyimbula Besigye ne Lukwago

Pulezidenti alagidde ku nteeseganya z’okuyimbula Besigye ne Lukwago

Lukwago
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

PULEZIDENTI Museveni awadde ekiragiro ku by’okuyimbula Dr. Kiiza Besigye ne Erias Lukwago abamaze ekiseera mu busibe. Minisita w’ensonga za Ssemateekaera Ssenkagale wa DP, Nobert Mao ye yabikkudde ekyama nga bwe waliwo enteeseganya ezigenda mu maaso ku by’okuyimbula Besigye ne Lukwago nga bakolera ku biragiro bya Pulezidenti.
Enteeseganya zikulembeddwaamu Gen. Salim Saleh eyalagiddwa okukola buli ekisoboka okulaba ng’obulamu bw’abasibe ababiri butereera.

“Ekiragiro kya Pulezidenti kya kwogera na buli muntu akwatibwako ennyo obulamu bwa Erias Lukwago ne Dr. Besigye, ku lw’obulungi bwa Uganda tubeere n’okukkaanya,” Mao bwe yagambye.
Yalaze essanyu olw’okuba ng’obulamu bw’abasibe ababiri bugenda butereera, wabula n’abawa amagezi bulijjo okumanya nti Gavumenti y’eri mu buyinza era buli kye bakola ebeera ebalaba. Mao yasabye wabeewo okukkaanya eggwanga litereere kuba zino nsonga z’abyabufuzi ezisobola okuggwa n’okukkaanya. Abantu baabulijjo, Mao yabasabye bakkirize enteeseganya okugenda mu maaso baggyeemu ebyokuteebereza kuba obukulu bw’ensonga bwetaaga ebintu ebimu okukuumibwa nga byakyama.
“Wagenda kubaawo okwogerezeganya omuli okwogera amazima, okwenenya n’okusonyiwagana buli kimu kiggwe mu mirembe,” Mao bwe yagasseeko.
Eky’okuba nga waliwo enteeseganya, Mao yagambye nti tekiyimirizisa misango egiri mu kkooti okwongera okuwulirwa wadde abasawo okukola ogwabwe. Yayogedde ku nkola za mirundi esatu ezigenda mu maaso omuli; okuwuliriza emisango mu kkooti, okujjanjaba abasibe awamu n’enteeseganya ezisuubirwa okuvaamu ekyamaanyi ekijja okumalawo obunkenke obuli mu misango. Mu kiseera kino ekisinga obukulu kwe kusooka okutaasa obulamu bw’abasibe kuba omuntu agenda okufa ne bwayimbulwa tekiba na makulu.
Besigye avunaanibwa emisango gy’okulya mu nsi olukwe ng’ali wamu n’omuyambi we Hajji Obeid Lutale n’omuserikale wa UPDF Capt. Denis Oola. Baamukwatira Nairobi mu Kenya nga November 16, 2024 n’oluvannyuma n’akomezebwawo mu Uganda n’aggulwako emisango gy’okulya mu nsi olukwe. Yazirika ng’ali mu kkooti n’atwalibwa mu ddwaaliro era okuvaolwo atoba n’obulwadde.
Obulwadde bwe bwanyinyittira Omuzungu, Andrew Wilson Orlando, nzaalwa ya America, bwe yatandika okumuwaako obujulizi obumulumiriza okukola olukwe lw’okutta Pulezidenti Museveni, n’afuba okumulemesa kyokka omulamuzi ne yeerema n’agenda mu maaso n’okuwuliriza. Ekyaddirira ya Besigye eyali aleekanira waggulu okutondoka ng’adda emabega.

Besigye

Besigye


Abaserikale b’amakomera be baamukwata n’atatuuka ku ttaka, n’assibwa mu ambyulensi era okuva olwo taddangamu kutereera kulabikako mu kkooti. Lukwago eyali munnamateeka wa Besigye yakwatibwa okuva mu maka ge e Wakaliga nga June 15, 2026 n’asindikibwa mu kkomera e Luzira oluvannyuma lw’okutwalibwa mu kkooti n’aggulwako omusango gw’okumanya ku lukwe lw’okuvuunika Gavumenti kyokka n’atabuulirako ba buyinza.
Oludda oluwaabi lulumiriza abasibe nti wakati wa 2023 ne 2024 nga bali n’abantu abalala abatannaba kukwatibwa beetaba mu lukwe lw’okuwamba Gavumenti nga bakozesa emmundu nga bali mu Uganda n’amawanga amalala nga Switzerland, Greece ne Kenya.
EMBEERA YA LUKWAGO EKANZE ABA FFAMIRE
Aba ffamire ne mikwano gya Lukwago emitima gibeewanise bwe baakitegedde nti bamukebedde ne bamuzuulamu obulwadde obulala obwamutwazizza mu ddwaaliro e Mulago ng’ali bubi.
Abasawo abakugu baamukebedde ne bazuula nga ebimu ku bitundu bye mu lubuto birimu amabwa nga gamuleetera obulumi n’alemererwa okulya, okutuula wadde okwebaka.
Kitaawe omuto Hajj Abdul Ssewankambo amanyiddwa nga Muzigo yategeezezza Bukedde nti abasawo bwe baazudde ekivaako obulumi mu lubuto ne balagira aggyibwe mu ddwaaliro e Mulago ne bamutwala e Lubowa mu Joint Medical Research Clinic gy’ajjanjabirwa n’okumukuumira.
Muzigo yagambye nti obulwadde bwe obuludde nga bumuluma bumanyiddwa nti bwa ggumba eryaseseetuka mu mugongo era we baamukwatira ng’akola nteekateeka kuddayo Buyindi baddemu okumutereezaokulowoozebwako.
KYE BOOGERA KU BY’ENTEESEGANYA
l Mukazi wa Besigye, Winnie Byanyima yatadde obubaka ku mukutu gwa X (eyali twitter) n’ategeeza nti talina ky’amanyi ku nteeseganya zoogerwako kuba eddembe ly’obuntu n’obulamu ddembe lya bwebange ebitalina kuteesebwako.

l Dr. Lulume Bayiga, amyuka ssentebe wa PFF owa Buganda yagambye nti yayogeddeko ne Besigye ne yeegaana ebyokubeera mu nteeseganya n’omuntu yenna.
Yamutegeezezza nti ayagala mu ayimbulwe ku kakalu ka kkooti , afune obujjanjabi,  n’oluvannyuma awozesebwe ku bimuvunaanibwa.
l Gye buvuddeko Ssaabawaabi wa Gavumenti, Lino Anguzu yasinziira ku kitebe kya The Justice Law and Order Sector e Naggulu n’agamba nti singa enteeseganya ezoogerwako zitambula bulungi, beetegefu okussa mu nkola ebituukiddwako. l Omumyuka wa Ssaabwandiisi wa PFF, Keneddy Okello yagambye nti eby’enteeseganya talina kyabimanyiiko kuba omusango gwatambula dda mu kkooti nga Gavumenti bw’eba erina obujulizi obulumiriza Besigye ne banne ebulage ereke omusango gusalibwe.
l Amyuka akulira olukiiko lw’oku ntikko olwa PFF, Wasswa Birigwa agambye nti ng’ekibiina tebalina kye baasazeewo ku by’okuteesa ne Gavumenti ku by’okuyimbula
Besigye ne Lukwago. l Ye omumyuka w’omwogezi wa FDC, Walid Lubega, yagambye nti enteeseganya za Besigye zigenda mu maaso nga zirimu n’abakulu abakulembera omukago gwa IPOD ogugatta ebibiina ebirina ababaka. l Minisita w’ensonga z’amawulire, Justine Kasule Lumumba yakakasizza enteeseganya nga bwe ziriwo era yasisinkanye Gen. Saleh ku nsonga y’em

Tags: