OKUWULIRA n’okusala emisango gy’ebyokulonda okukyagenda mu maaso mu kkooti ez’enjawulo kutadde ababaka abamu ku bunkenke, ate abalala bajaganya.
ENSALA MU GWA NAMEERE EYOGEZZA AB’E MASAKA OBWAMA
Abalonzi e Masaka baasigadde beewuunya ensala y’omulamuzi Bernald Namanya bwe yagobye musango Rose Nalubowa gwe yawaabira minisita Justine Nameere okumunyagako obuwanguzi bwe bwe baddamu okubala obululu.
Omulamuzi Namanya bwe yabadde agoba omusango guno yategeezezza nti oludda oluwaabi lwalemwa okukakasa kkooti nti wadde okuddamu okubala obululu okwakolebwa omulamuzi Abert Asiimwe tekwagoberera mateeka bwe baasanga bookisi ensumulule naye kino tekiweesa Nalubowa buwanguzi, bannamasaka kye bagamba nti omulamuzi alabika teyabadde mu mbeera ze ng’awandiika ensalawo eno.
Joseph Sseggona omu ku balonzi yagambye nti ensala eno eyongedde okutyoboola ekitongole ekiramuzi kubanga babadde basuubira nti Namanya anaasinziira ku bujulizi obwaleetebwa n’enneeyisa y’omuwawaabirwa bwe yali mu kkooti ye nti naye bino teyabitunuulidde, ekintu ekimalamu abantu essuubi.
Omulamuzi Namanya mu nsala ye yagambye nti Nalubow teyakakasa nti bookisi ezitaabalibwa zaali zirina ze kikyusa ku buwanguzi bwe.
KKOOTI EKAKASIZZA ABABAKA ABAKIIKIRIRA ABAKOZI
Omulamuzi Allan Nshimye yalangiridde Phiona Nakku, Annet Birungi, Namubiru Margret, Arinaitwe Rwakajara ne Agaba Gilbert ku bifo by’okukiikirira abakozi mu Palamenti oluvannyuma lw’okugoba omusango nti abawaaba tebaagoberera mateeka.
Micheal Kamba Bhamusangala ye yali yawaaba omusango ng’agamba nti okulonda kwali kujjudde ebirumira, tebaagoberera mateeka nga tewali na lukalala lwa balonzi, empapula kwe baasunsulira abavuganya 26 zaali nkyamu, ate akakiiko ne kalemwa okusazaamu okulonda.
Kyokka abawawaabirwa nga bayita mu bannamateeka baabwe Jude Byamukama ne Derrick Bazekuketta baawakanya empaaba ya Kamba nga bagamba yalemwa n’okuwa abawawaabirwa empaaba ye ate talina muzinzi mu kuwaaba omusango ogwo.
Omulamuzi yagambye nti ensonga ezimu Kamba ze yawaaba zaali zirina kuwulirwa kakiiko k’ebyokulonda, n’amulagira asasule be yawaabira obudde ne ssente ze basaasaanyizza mu musango.
ABAJULIZI BA KIBUULE BABAKUNYIZZA
Eyali minisita Ronald Kibuule aleese abantu 15 okusuuza Abdallah Kiwanuka ekya Mukono North. Abawadde obujulizi kuliko Murisidi Tebuseeke, Sadick Waddi Ssenyonjo eyagambye nti Kiwanuka yamuwa enguzi ya mitwalo 10, kyokka bapuliida ba Kiwanuka obujulizi baabukubyemu ebituli nti yasooka kubeera muwagizi wa Kiwanuka era bulijjo yali omuwa ssente z’okukuba kakuyege.
ABAABULA KU FAMIRE BABALEESE MU GWA NAMBOOZE
Waabaddewo okusoberwa ku kkooti e Mukono abazadde abaludde nga banoonya abaana baabwe abaali bagambibwa okuwambibwa bwe beekanze nga baleeteddwa ng’abajulizi musango Daisy Sarah Nabatanzi gwe yawawaabira Bakireke Betty Nambooze.
Abavubuka Joseph Yiga ne Fred Ssebatta ab’oku kyalo Misingye e Goma -Mukono baali bajulizi ba Nabatanzi kyokka ne beekyusa ne badda ewa Nambooze.
Ebeera yatabuse bwe baabadde baleeteddwa Nabatanzi mu kkooti wabula ne balaba bakanyama nga bakuba kitaabwe, kwe kubuuka mu mmotoka bamutaase. Batwaliddwa ku poliisi e Mukono