Amawulire

Okuzimba olutindo lwa Katonga kumazeewo obuwumbi 191

GAVUMENTI etongozza okuddamu okukozesa olutindo lwa Katonga olwamazeewo obuwumbi 191 era nga lwe lugatta ebitundu bya Kampala ku bitundu by’obugwanjuba.Lwatongozeddwa minisita w’ebyentambula, Fred Byabakama eyasiimye omulimu ogwakoleddwa kkampuni ya China Communications Construction Company (CCCC). Olutindo olupya obuwanvu bwalwo businga olukadde ne mmita ssatu ate ng’obugazi lwa mmita 80.

Lukululana ng’eyita ku lutindo lwa Katonga.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

GAVUMENTI etongozza okuddamu okukozesa olutindo lwa Katonga olwamazeewo obuwumbi 191 era nga lwe lugatta ebitundu bya Kampala ku bitundu by’obugwanjuba.
Lwatongozeddwa minisita w’ebyentambula, Fred Byabakama eyasiimye omulimu ogwakoleddwa kkampuni ya China Communications Construction Company (CCCC). Olutindo olupya obuwanvu bwalwo businga olukadde ne mmita ssatu ate ng’obugazi lwa mmita 80.

“Tusuubira obuwangaazi bw’olutindo emyaka 120 era singa luggyamu enjatika oba ne lugwamu ng’ebbanga terinnawera, kontulakita alina okutunnyonnyola kwe kivudde,” Byamukama bwe yagambye.
Namutikwa w’enkuba eyatonnya mu May wa 2023 yaviirako amazzi okwanjaala n’olutindo ne lugwamu. Ebidduka byatandika okukozesa amakubo amalala agayitira e Mpigi, Gomba, Sembabule ne Bukomansimbi.
Eyakuliddemu okuzimba olutindo, Tian Zhijun yagambye nti omulimu baagutandika mu July wa 2024 n’okukuba pulaani okuzimba kwennyini ne kutandika mu 2025. Olutindo lwa Katonga lweyambisibwa abantu abava e Kampala nga bagenda mu bitundu by’obugwanjuba n’amawanga g’omuliraano naddala Tanzania.
Byabakama yagambye nti Gavumenti eri ku kaweefube w’okumaliriza pulojekiti zonna ezibadde zeesiba batandike n’okukola enguudo empya.
Minisita yakubirizza ab’ebidduka okuvuga n’obwegendereza n’asaba abantu okwewala enguzi kuba eremesezza emirimu gya Gavumenti okukolebwa.
Omukolo gwetabyeko ne minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi, Susan Nakawuki (Mawokota South) eyasabye minisitule y’ebyenguudo eyanguyeeko okukola oluguudo lwa Mpigi Express Highway lubawonye ku kalippagano mu bitundu by’e Kyengera

Tags: