ABAANA bangi abazaalibwa mu malwaliro ne batandikira ku mpiso olw’ebizibu eby’enjawulo okuli n’okusiigibwa endwadde okuva ku bannyaabwe. Abamu bazaalibwa amaaso gazibye, abalala amatu nga galimu amasira abalala ne bazaalibwa n’amabwa nga kiva ku maama kwegayaalirira kwejjanjabisa bw’alwala ng’ali lubuto ekikosa omwana ali munda n’azaalibwa nga tatuuse oba olubuto okuvaamu.
Dr. Samuel Mutambuze, owa ku Alpha Medical Center amenya endwadde owoolubuto z’alina okwanguyira okujjanjaba ng’azifunye obutakosa mwana, okuli :
1 Omusujja gw’ensiri : Abaana abasinga abazaalibwa n’omusujja ogw’ekika kino tebatera kuwona kubanga bwe bulwadde obuttira mu nnaku ssatu zokka singa obeera obugayaaliridde.
Dr. Mutambuze agattako nti, omusujja gw’ensiri bwe bumu ku bulwadde bwe basinga okukubiriza abakyala ab’embuto okwewala naddala nga beebaka mu butimba bw’ensiri oba okubujjanjaba nga bwakabakwata buleme kukosa mwana ali mu lubuto kubanga bw’azaalibwa n’abwo, emikisa gye okuwona gibeera mitono, ng’abazaalibwa nabo ebitundu 80 ku 100 bafa.
2 Akawuka akaleeta siriimu : Omukyala ali olubuto ng’alina akawuka akaleeta siriimu asobola okwewala okukasiiga omwana kubanga bw’afuna olubuto abasawo basobola okumukyusiza eddagala ly’abadde akozesa oba okukyusa emirundi n’emmira gy’abadde agoberera bataase omwana ali mu lubuto.
Wadde omwana abeera munda mu maama, tebagatta musaayi era singa maama n’omusawo bakola omulimu gwabwe naddala mu kaseera omwana w’azaalirwa, basobola okumutaasa obutasiigibwa kawuka.
3 Obulwadde bw’ekibumba : Omwana asobola okubufuna ng’akula mu lubuto lwa maama we oba mu kaseera k’okumuzaala. Omwana bw’azaalibwa nabwo, abeera wa kyenvu kubanga taba na musaayi gumala, abeera azimbye ebitundu by’omubiri ebimu naddala mu nnyingo, engalo n’ebitundu ebirala.
Amaaso gabeera gatangaala ng’emimwa gya langi ya bbululu. 4 Endwadde y’abazira : Eno eyitira mu kwegatta era emu ku ndwadde ez’obukaba. Singa maama agifuna asobola okugisiiga omwana akyali mu lubuto n’azaalibwa nayo. Okumanya enddwadde eno nkambwe, omwana asobola okuzaalibwa ng’amaaso tegalaba era nga tawulira wamu n’okumuzaala ng’ebitundu ebimu eby’omubiri tebitonze bulungi.
5 Kandida : Obulwadde buno buyingira mu nseke ne butta obutoffaali bw’omubiri ne bufuuka amasira era nga bwakutte omwana, azaalibwa n’amabwa mu kamwa nga n’olususu lwe lubeera terulabika bulungi era kyangu omuzadde okukitegeera nti, omwana we aliko ekizibu.
6 Kabootongo : Obulwaddebuno bugenda okutuuka omwana gy’akulira singa omukyala abeera olubuto n’atayanguwa kwejjanjaba. Omwana bw’azaalibwa nabwo, amaaso gabeera malwadde nga galiko ekifu oba nga tegalaba.
7 Ssennyiga n’ekifuba : Akawuka akavaako maama okukwatibwa ssennyiga katambulira ddala okutuuka mu nnabaana ne kakwata omwana n’azaalibwa ng’afeesa era oluba okuzaalibwa alina kusookera ku ddagala asobole okuwona.
8 Akafuba : Kano kasinga kutawaanya abalina akawuka ka siriimu kubanga kanafuya abaserikale abakuuma omubiri era omwana asobola okuzaalibwa nako. Omutwe gubeera gumuluma nga n’omubiri gubeera munafu.
9 Omwana okuzaalibwa nga taweza buzito bwa ssalira : Wadde buno si bulwadde, naye embeera eva ku maama buteefaako ng’ali lubuto naddala mu kulya obulungi kubanga maama k’alyako n’omwana ky’agabanako.
Omwana asobola okuzaalibwa nga taweza kkiro emu n’ekitundu ate nga munafu nnyo nga buli kalwadde akajja kamuyiikiriza olw’okubanga teyafuna biriisa bituufu.
ENDWADDE ENZIBU OKUZIYIZA
Dr. Vicent Lumu, omukugu mu kujjanjaba endwadde z’abaana agamba nti, waliwo endwadde endala ezikwata abaana okuva ku bannyaabwe nga zo tebasobola kuzitangira obutafaananako n’ezo ezikooneddwako waggulu.
Endwadde ezigwa mu ttuluba eryo z’ezo ezigoba akalandira ka ffamire kubanga zitambulira mu butoffaali era si kyangu kya kuwona, wabula okuwa omwana eddagala eriziweweeza singa abeera azaaliddwa ng’alina emu ku zo. Zino kuliko;
10 Obulwadde bwa siikoseero, ssukaali nepuleesa.
Dr. Lumu annyonnyola nti, kiba kirungi abaagalana abateekateeka okuzaala okugenda mu ddwaaliro okwekebeza basooke bamanye oba balina endwadde ezo basobole okufuna okulung’amizibwa kw’abasawo abaana be banaazaala baleme kukosebwa.
Ng’oggyeeko ezo endwadde essatu, endwadde endala basobola okuzitangira ne zitakwata mwana ng’ali mu lubuto ne bw’aba ng’azaalibwa omwana n’asobola okubeera n’obulamu obweyagaza.
11 Kookolo : Eno y’emu ku ndwadde omwana gy’azaalibwa nayo nga tesobola kuwona wabula okugiweweezaako obuweweeza.
Dr. Mutambuze agamba nti, abakyala abamu bwe babeera embuto bamanyi okulya n’okukozesa ebintu ebicaafu ebibaviirako okufuna akawuka ka tetenaasi akagenda okutuuka mu nnabaana ne kakwata omwana n’azaalibwa ng’alina amabwa agafuuka kookolo.
Agattako nti, abakyala abamu balina enkola y’okwejjanjaba n’ebamira eddagala erikosa omwana munda n’azaalibwa ne kookolo.