Amawulire

Eyavugisa ekimama n’avaako omuntu okufa kkooti emusindise Luzira agira yeebakako eyo!

Ismail Ssekidde 40 ng’ono akola gwakusindika kijji omutuuze w’e Zana mu disitulikiti y’e Wakiso asimbiddwa mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Winnie Nankya Jatiko n’amusomera emisango 5 gyonna n’agyegaana.

Eyavugisa ekimama n’avaako omuntu okufa kkooti emusindise Luzira agira yeebakako eyo!
By: Harriet Nakalema, Journalist @New Vision

Ismail Ssekidde 40 ng’ono akola gwakusindika kijji omutuuze w’e Zana mu disitulikiti y’e Wakiso asimbiddwa mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Winnie Nankya Jatiko n’amusomera emisango 5 gyonna n’agyegaana.

 

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwa omuwabi wa gavumenti, Allan Mucunguzi mu mpaaba yaalwo kigambibwa nga July 19, 2026 ku nkulungo ya Ssaawa ya Queen ku luguudo lwa Ntebe, Ssekidde yali avuga emmotoka kika kya Toyota Hiace nga teyeegenderezza n’akoona Shanita Nannyonga ekyamuviirako okufa.

 

Emisango emirala egimuguddwako kuliko ogw’okuvugisa obulagajjavu ku luguudo lw’amanyi nti lukozesebwa abantu ab’enjawulo, okuvuga nga talina bisaanyizo bimala wamu n'okulemererwa okuwaaba omusango gwe yazza ku poliisi eyali erinaanyeewo.

 

Gino gyonna agyegaanyi wabula Mucunguzi ategeezezza kkooti ng’okunoonyereza bwe kuwedde n'asaba olunaku batandike okuwulira engeri Ssekidde bwe yazzaamu emisango gino.

 

Ono bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa nga October 4, 2026 lw’anaakomezebwawo okutandika okuwulira emisango egimuvunaanibwa n'okunaaba okweyimirirwa

Tags:
Luzira
Kuvuga
Kimama
Kufa
Muntu