ABANTU basatu abagambibwa okwenyigira mu kubba obutimba bw'ensiri obwabadde obw’okugabibwa e Kassanda, poliisi ebakutte.
Kigambibwa nti baabasanze n'endibota bbiri ez'obutimba era nga mu kiseera kino, bakuumirwa ku poliisi y'e Kakungube ng'okunoonyereza kugenda mu maaso.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, agambye nti omusango gwaloopeddwa Rashid Nsibuka 40, ow’omuluka gw'e Kyannamugera mu ggombolola y'e Nalutuntu e Kassanda era nga baakutwalibwa mu kkooti.