Amawulire

Owabbooda eyakwatibwa ng'avuga atamidde asindikiddwa Luzira

Omuwaabi wa Gavumenti, Mercy Yamangusho Khaidara ategeezezza kkooti nti nga October 25, 2026, Kwarisingura mu budde bw'ekiro yakwatibwa bavuzi banne ababbooda bwe baamulaba ng’avuga atamidde ne bamutwala ku poliisi

Owabbooda eyakwatibwa ng'avuga atamidde asindikiddwa Luzira
By: Racheal Nankya, Journalist @New Vision

OMUVUZI wa bbooda eyakwatiddwa olw'okusangibwa ng’avuga atamidde asindikiddwa Luzira

 

Emmanuel Kwarisingura 22, omugoba wa bodaboda mu bitundu by'e Ntinda yasomeddwa omusango guno bwe yasimbiddwa mu maaso g'omulamuzi Nicholas Aisu era n’agukkiriza.

 

Omuwaabi wa Gavumenti, Mercy Yamangusho Khaidara ategeezezza kkooti nti nga October 25, 2026, Kwarisingura mu budde bw'ekiro yakwatibwa bavuzi banne ababbooda bwe baamulaba ng’avuga atamidde ne bamutwala ku poliisi

 

Ono yali avuga bbooda nnamba UEM 906 Y emmyufu mu langi mu bitundu by'e Bukoto ng’atamidde nnyo ekisukkiridde

 

Yamangusho ategeezezza kkooti nti guno gwe mulundi ogusoose Kwarisingura okuzza omusango wabula  alina okuweebwa ekibonerezo ekimusaanidde kubanga yali atadde obulamu bw’abo abakozesa ekkubo mu katyabaga ng’asaanidde okubonerezebwa abalala bamulabireko

 

Omulamuzi Aisu omusango agwongezzaayo okutuusa nga November 3, 20206 Kwarisingura lw’anaakomezebwawo mu kkooti okuweebwa ekibonerezo.

Tags:
Amawulire
Kuvuga
Bbooda
Luzira