OMUVUBUKA eyaakava mu kkomera, poliisi ezzeemu okumukwata ku bigambibwa nti abadde anyaga nnamba puleeti okuva ku mmotoka, n'asaba bannyini zo ssente azibaddize.

Ssekyanzi eyakwatiddwa.
Ekitongole kya Flying Squad kyasitukiddemu ne bamulondoola ne bamukwata era nga mu kiseera kino akuumirwa ku poliisi e Mityana.
Kigambibwa nti akirizza okwenyigira mu muze guno nti ng'okuva June okutuusa kati, abadde yaakabba ezisukka mu 9.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, agambye nti ono, babadde baakamusiba emirundi ebiri ku misango gye gimu era ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.