ABASUUBUZI abakolera ku kizimbe kya Zebra Building ku Nasser Road beekalakaasizza nga bawakanya eky’omugagga nannyini kyo, Godfrey Nyenya okubongezza ssente z’obupangisa.

Abaserikale Nga Batwala Abamu Ku Basubuuzi Abaakwatiddwa Nga Beekalakaasa Ku Nasser Mu Kampala.
Alabirira ekizimbe kino (yasabye amannya gasirikirwe) yagambye nti abasuubuzi baayitibwa ne babannyonnyola era bangi basasula ssente ezo kubanga za URA naye tazirinaako buyinza zigenda butereevu mu Gavumenti.
Omwogezi wa KACITA Sulaiman Matovu yawabudde nti tekiba kituufu aba URA okwongeza bannannyini kizimbe ssente za VAT ate ne baziteeka butereevu ku basuubuzi, n’agamba nti wateekwa okubaawo okuteesa.
Abasuubuzi abeekalakaasizza baggadde oluguudo wabula poliisi okuva ku CPS yayanguye n’ekwata abamu okutangira abalala okubeegattako.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala némirirwano Rachael Kawala yagambye nti abasuubuzi 18 be baakwatiddwa.