Omuntu omu afiiriddewo n'omusirikale wa poliisi n'alumizibwa, abazigu bwe balumbye loogi e Kisoro.
Ettemu libadde ku Mucha Lodges ku luguudo lwa Mutolere, Nyundo Rd okumpi ne Mulehe e Kisoro.
Kitegeezeddwa nti abazigu abemmundu balumbye ekifo ekyo ne bakuba amasasi agasse omukazi n'okulumya omupoliisi oluvannyuma ne babulawo era babayigga.
Omwogezi wa poliisi e Kigezi ,Nelson Tumusiime, agambye nti babayigga era ng'omusirikale ajanjabirwa mu ddwaaliro e Kisoro...