KATTIKIRO wa Uganda Robinah Nabbanja asabye abakulira ebitongole bya gavumenti ebivunaanyizibwa ku kugula n'okutunda ebintu bya gavumenti mu Uganda n'okwetoloola ensi yonna okukozesa nga amazima n'obwerufu mu nkola y'emirimu gyabwe.
Yategeezezza nti kumpi ebitundu 50% ebya bajeti y'eggwanga biggweera mu byamirimu n'okugula ebintu bya gavumenti, n'olwekyo abakungu mu bitongole bino basaanye okubeera abasaale mu kulwanyisa enguzi n'okweyambisa tekinologiya okutuusa obuweerereza ku bannansi ate mu budde .

Pulezidenti w'ekitongole kino ekya " International Public Procurement ", Polof. Fuguo Coa yakuutidde abakozi mu bitongole bino okubeera abeegendereza nga bakozesa tekinologiya omupya owa AI mu nkola yaabwe ey'emirimu.
Aba Uganda Management Institute nga be baakulembeddemu enteetateeka z'olukung'aana luno baalaze obwetaavu bw'amawanga ku lukalu lwa Africa okukola enkyukakyuka n'ennoongosereza mu ngeri gye bagulamu ebintu bya gavumenti saako n'entambuza y'emirimu bannansi basobole okubiganyulwamu.