MINISITULE y’ebyobulamu eteeseteese okukebeza ababaka ba palamenti abasajja bonna okuzuula endwadde ezibaluma n’okulaba nga bafuna obujjanjjabi ng’obudde bukyali okusigala nga balamu.
Kino kyakukolebwa enkya ku Lwokusatu ng’omu ku kawefube w’okwegatta ku nsi yonna okuza olunnaku lw’abasajja olubeerayo nga 19 November buli mwaka..
Sipiika wa palamenti Jacob Oboth bw’abadde aggulawo olutuula lwa palamenti leero, yakuutidde ababaka ba palamenti abasajja bonna okujjumbira enteekateeka eno okulaba bwe bayimiridde mu nsonga z’ebyobulamu.
Eri abo abatalabikeko agambye bajjakutwalibwa nga ababaka abatali siriyaasi era amannya gasomebwe lwatu buli omu abamanye.

Ababaka ba Palamenti
Ebitundu bye bakiikirira yategeezezza nti bi betaaga balamu okubatuusaako empeereza ennungi n’olwensonga eyo nga kibakakatako okubeerawo okwekebeza.
Enteekateeka ababaka abasajja bajaanirizza kyokka ababaka abakazi nga bakulembeddwa Christine Apolot (mukazi/Kumi) nabo basabye enteekateeka yemu yeeba ebategekerwa ng’olunaku lw’abakyala olubeerayo buli mwaka mu mwezi gw’okusatu nga lutuuse.
Yayongerezzaako nti, enteekateeka y’okukebeza abasajja tesaana kukoma ku babaka ba palamenti bokka wabula etuuke nemu malwaliro ku gombola abasajja abalala bajiganyulwemu.
Ababaka bakakasizza ekirwadde kya kkansa okweyongera mu ggwanga era nga buli muntu yetaagisa okufaayo ennyo eri obulamu okuyita mu kwekebeza .
Omubaka Ann Maria Nankabirwa (Mukazi/Kyankwanzi) kkansa okweyongera yakitadde ku ddagala erikozesebwa okufuuyira ebirime eriviiriddeko abantu okulwala era nasaba gavumenti ebeeko kyekolawo.